Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kasabye abeesimbyewo naddala ku bwapulezidenti okuloopa ab’ebyokwerinda ne ba RDC ababalemesa okukuba enkung’aana n’okunoonya akalulu mu butali bwenkanya.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/aatata.png)
Bino byogeddwa omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Paul Bukenya, n’ategeeza nti kibabeerera kizibu ng’akakiiko okuyingira mu nsonga zino nga tebafunye kwemulugunya mu butongole.
“Tetumanyi lukung’aana lwonna lwagaaniddwa okuggyako ezimu ku b’ebyokwerinda ze balemesezza olw’obutagondera mateeka, naye singa wabaawo obutali bwenkanya, batutuukirire tusobole okuyamba,” Bukenya bwe yagambye.
Bukenya yannyonnyodde nti wadde kirungi okutegeeza abamawulire nga waliwo alemeseddwa okukuba enkung’aana, naye ate tewaba kyamaanyi bannamawulire kye bayinza kuyamba.
Okusaba kwa Bukenya kuddiridde abeesimbyewo ab’enjawulo okuli owa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, n’owa FDC Patrick Amuriat Oboi, okulemesebwa okukuba enkung’aana mu bitundu ebyenjawulo.
Bukenya agamba nti singa omuntu abeera agoberedde bulungi amateeka agamuweebwa akakiiko k’ebyokulonda ne Minisitule y’ebyobulamu tewali nsonga lwaki alemesebwa.
Ekizibu ekirala kye kya bannannyini leediyo mu bitundu by’obukiika kkono okugaana bannabyabufuzi okuli Kyagulanyi ne Amuriat okwogerera ku leediyo zaabwe. Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko Amuriat yamala eddakiika asatu nga ayogerera ku leediyo etaliiko, wadde nga yali asasudde obukadde 30.
Ku nsonga zino Bukenya yategeezezza nti bali muteeseganya n’ekitongole kya Uganda Communications Commission ekirung’amya ebyempuliziganya okulaba nga bagonjoola ebizibu bino, kubanga oluvannyuma lw’okuwera enkung’aana z’abantu abangi, okuyitira ku mikutu gy’amawulire y’engeri yokka gye basobola okutuuka ku bantu abangi.
Mu ngeri yeemu akakiiko k’ebyokulonda kasindise abakugu n’ebimotoka okuli emizindaalo mu bitundu ebyenjawulo okusomesa abantu ku nsonga z’ebyokulonda.