Bya Ssemakula John
Kyambogo
Enteekateeka y’okuwandiisa n’okukakasa abagenda okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, kufundikiddwa olunaku lwaleero ku Lwokubiri. Abeesimbyewo 11 be bakakasiddwa okulabikira ku kakonge k’okulonda okujja.
Ku bano kuliko; Munnakibiina kya National Resistance Movement (NRM), Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, Munnakibiina kya Democratic Party (DP), Norbert Mao, Owa Forum for Democratic Change (FDC), Patrick Oboi Amuriat ne Munnakibiina kya Alliance for National Transformation, Mugisha Muntu.
Abalala kuliko; Willy Mayambala, Munnamagye Henry Tumukunde, John Katumba, Nancy Kalembe Linda, Fred Mwesigye ne Joseph Kabuleeta, abatalina kibiina kyonna kwe bajjidde.
Bano Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Mugyenyi Byabakama, abalagidde okusisinkana akakiiko k’ebyokulonda ku Lwakuna lwa wiiki eno, bateese ku ngeri gye bagenda okukwatamu kkampeyini zino.
Byabakama abeesimbyewo abasabye okugondera amateeka agabaweereddwa akakiiko k’ebyokulonda okusobola okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
“Tubakubiriza okutambuza kkampeyini zammwe obulungi nga mugondera ebiragiro bya Ssennyiga Corona,” Byabakama bw’agambye.
Wabula Byabakama talangiridde lunaku lutuufu bannansi lwe bagenda kulonderako wadde olunaku kkampeyini lwe zirina okutandika.