Mukono
Omulamuzi wa kkooti ento e Mukono akkirize abantu 60 okweyimirirwa ku misango gy’okwesenza ku ttaka ly’ekibira ky’e Namanve, ate abalala 15 ababadde tebalina babeeyimirira n’abasindika mu nkomyo ku alimanda.
Bano be bamu ku bantu abawerera ddala 500 abaakozesa ekifuba n’ebissi bye baali balina okuzingako ettaka ly’ekibira ky’e Namanve nebatandika okulitemamu Poloti n’okulyegabanya.
Poliisi bwe yakola ekikwekweto okubakwata, yakwatako nsanvu era n’etwala ne Ppikipiki 75 ezaasuulibwawo nga bannyini zo babuna emiwabo.
Omulamuzi Stella Okwang, leero enkaaga abakkirizza okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti akatali ka buliwo ka mitwalo 30 buli omu ate ababeeyimiridde nebasabibwa akakalu ka kakadde kamu aka ssiringi nako akatali kabuliwo.
Buli omu ku bano avunaanibwa omusango gw’okutwala ettaka ku kifuba ekintu ekikontana n’ekitundu 77, 22 mu tteeka lya ‘Penal Code’
Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Sarah Challote Kamusiime ategeezezza kkooti nti ng’ennaku z’omwezi 23 ne 30 omwezi gw’omwenda beewang’amya ku ttaka lino ku kifuba.
Wadde ng’ettaka lino ekitongole ky’ebibira ekya National Forestry Authority(NFA) kigamba lyakyo, leero Kamusiime ategeezezza kkooti nti ettaka lino lya UIRI Investments limited, Uganda Investment Authority, Luwangula Estates Limited ne Robert Kiwalabye.
Kansiime annyonnyodde nti bamaze okukola okunoonyereza mu nsonga eno era nga kati balinze kimu omusango gutandike. Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuuka 26 omwezi guno okuddamu okuwulirwa.
Kino kiddiridde Pulezidenti Yoweri Museveni okulagira Col. Edith Nakalema okunoonyereza ku bantu abaawambye ettaka lino ery’ekibira kya Namanve ne Zirimiti, byonna ebiri mu disitulikiti y’e Mukono.
Nakalema yategeeza nti bagenda kukola kyonna okuzuula abaawambye ettaka lino n’ekigendererwa kyabwe awamu ne be bakolagana nabo.
Mu kiseera kino, ettaka lino likuumibwa magye ne poliisi okusobola okulitaasa ku baagala okulyezza. RDC Fred Bamwine agamba nti kino kigendereddwamu kuziyiza bantu basaalimbira ku ttaka lino.
URN