Okwekalakaasa okutasalako kuwalirizza omukulembeze wa Bolivia Evo Molares okulekulira. Ono amaze ku bwa pulezidenti emyaka 14. Okutuuka ku kusalawo kuno, omuduumizi wa magye Williams Kaliman yamaze kumusaba alekulire asobole okutaasa ekiyiwa musaayi mu Bolivia. Ekyatanula okwekalakaasa mu Bolivia, kekalulu akaakubwa ssabbiiti nga ssatu emabega akawangulwa Molares wabula nga ab’oludda oluvuganya bagamba ono yabba kabbe. Ebimu ku bitongole ebyakuuma akalulu kano byategeeza nti bwebyatunuulira ebyava mu kalulu, byakizuula nti waliwo okukyusibwakyusibwa okwamanyi mubyava mu kulonda nebigamba nti mumbeera eyo, kizibu okumanya ani yawangula akalulu mubutuufu wakati wa Morales ne Carlos Mesa eyamuvuganya. Omumyuka wa pulezidenti Alvaro Garcia Linera, awamu n’akulira palamenti eyawaggulu (Senate) Adriana Salvatierra nabo baalekulidde. Amawulire gano olwagudde mumatu gabeekalaakaasi, nebayisa ebivvulu nga bwebeeyozaayoza olw’okuwangula nnakyemalira. Bolivia y’emu kunsi ezisinga obwavu ku lukalu lwa Amerika, siyeyokka abeekalakaasi gye basudde gavumenti. Gyebuvuddeko ssabaminisita wa Lebanon, Saad Harir naye yalekulira oluvanyuma lw’okwekalakaasa okutasalako. Ensi nga Hong Kong, Iraq, Chile n’endala nazo zimaamiddwa okwekalakaasa.