• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abeekalakaasa bazzeemu, baagala Bobi Wine ayimbulwe mu bwangu

Gambuuze by Gambuuze
November 19, 2020
in Amawulire
0 0
0
Abeekalakaasa bazzeemu, baagala Bobi Wine ayimbulwe mu bwangu
0
SHARES
18
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Kampala

Poliisi ezzeemu okugobagana n’abeekalakaasa mu bitundu bya Kampala okuli; Mulago, Kawempe ne Wandegeya, nga baagala poliisi eyimbule Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Kyagulanyi yakwatiddwa eggulo ku Lwokusatu  okuva e Luuka, n’aggalirwa e Nalufenya mu Jinja olw’okumenya ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda ebigendereddwamu okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Abawagizi ba Kyagulanyi okuli aba boodabooda, abooza emmotoka n’abantu abalala be bamu ku bakedde okubanja Kyagulanyi okuyimbulwa awatali kakwakkulizo konna.

Poliisi wadde yalabudde abantu okukomya okwekalakaasa n’okwokya ebipiira, bano bakedde kuggala nguudo e Mulago n’e Wandegeya wakati mu poliisi okugezaako okubagumbulula.

Abantu abasoba mu 50 bagambibwa okuba nti be batwaliddwa mu ddwaliro e Mulago nga bakoseddwa ttiyaggaasi.

Abamu ku beekalakaasizza, Arnold Tumwine, asabye Pulezidenti Museveni okulagira Kyagulanyi ayimbulwe mu bwangu kuba talina musango gwe yakoze.

 Bizineensi ku luguudo lwa Kampala –Gayaza  ng’eno ye wasangibwa amaka ga Kyagulanyi, zisanyaladde olw’abatuuze mu kitundu kino okukeera okubanja Bobi Wine, ne bano bookezza ebipiira n’okuggala enguudo okuviira ddala ku Kaleerwe okutuuka e Kasangati.

Emmotoka ezitambula ku luguudo luno ntono nnyo era ng’abamu ku basuubuzi balabiddwako nga batudde wabweru w’amaduuka gaabwe.

Ku ssaawa 4:30 poliisi, n’amagye bisazeeko obutawuni ku luguudo luno era ne bagobaganya abamu ku bavubuka ababadde bagambibwa okukuma omuliro mu nguudo.

URN

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist