Bya Ronald Mukasa
Mengo Kyaddondo
Omukulu w’Ekika kye Kiwere, Luwonko Omubbulukuse, Alexander Basajjabaka Sserwadda ayanjuddwa eri Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku lwa leero oluvannyuma lw’okuyita mu mitendera egimukakasa ku bukulu buno. Ono azze mu bigere bya Kitaawe, Luwonko Omubuze, James Mbaale Zzamuwanga era ayanjuddwa Katikkiro w’Ekika, Kyazze Appolo Mbaale.

Nga asinziira ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange Mengo ewabadde enteekateeka eno, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga annyonnyodde obukulu bw’okuzuula omutaka mu bwangu singa ali mu bukulu buno abula, bwategezeezezza nti kiyamba Ekika obutabeererawo ate n’ekiggyayo n’amakulu g’ennono n’obuwangwa bw’abaganda. Wano wasinzidde neyeebaza abenyigidde mu nteekateeka z’okufuna Omutaka Luwonko omuggya, wamu n’abakola ku nteekateeka z’okutereka Luwonko omubuze

Ow’omumbuga asibiridde Omutaka Luwonko Omubbulukusse entanda y’okuweereza Nnyinimu n’okukumaakuma bazzukulu be okubeera obumu ate nga bawulize eri Nnamulondo kwossa obutasuulirira buwangwa na nnono. Mu ngeri yeemu ono amusabye okwetaba ku mikolo gy’Ekika, ogy’Obwakabaka n’obutesamba nsisinkano z’Abakulu ba Busolya emirimu gye gimwanguyire.
Mukuumaddamula akalaatidde abakulembeza bw’Ekika okukwatizaako Luwonko omuggya mu buweereza bwe nga bamuyambako mu nteekateeka z’okukulaakulanya Ekika n’okukinyweza. Bano abasabye okulondoola n’okukuuma ebiwandiiko by’Ekika okusobola okubimanyisa abaliddawo mu biseera ebijja.
Ku lwa minisita ow’Ebyobuwangwa n’Ennono, Owek. Dr Anthony Wamala, Minisita w’Enkulakulana y’Abantu n’Ensonga za woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Chotilda Nakate Kikomeko abakubirizza ab’Ekika ky’Ekiwere okukuuma ettaka ly’Ekika n’okunyweza eby’enkulakulana okuli eby’ensoma n’ebyobulamu basobole okwongera amaanyi mu Kika kino. Owek. Nakate akkaatirizza ebigambo bya Katikkiro eby’okuwandiika ebikwata ku Kika n’okukuuma ebiwandiiko biyambe abaliddawo
Okusinziira ku Katikkiroo w’Ekika ky’Ekiwere, Kyazze Appolo Mbaale , Omutaka Omubuze agenda kuterekebwa ku Lwokusatu lwa sabbiiti eno nga 25 ku butakka bw’Ekika e Kasiniina mu Ssingo. Wabula ono ategeezezza nti ajja kusooka kusabirwa mu Kanisa ya St Gideon e Mukono mu Kyagwe enkya ku Lwokubiri omubiri balyoke bagwolekeze ku butaka.

Enteekateeka y’okwanjula Omutaka Luwonko yatabuddwamu Minisita w’Amawulire, Okukunga era omwogeezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke, abakulembeze ab’enjawulo mu Kika ky’Ekiwere n’abalala bangi.
awo, era agamba nti kino kikolebwa mu kugoberera ennambika y’Ekika ekyo ekiba kiviiriddwako ow’Akasolya. Bwatyo yeebaziza bonna abenyigidde mu nteekateeka z’okufuna Omutaka Luwonko omuggya, wamu ng’abakola ku nteekateeka z’okutereka Luwonko omubuze.









