Bya Musasi waffe
Ebitongole byebyokwerinda enkya ya leero biremesezza ekibiina kyebyobufuzi ekya FDC okukuba olukungaana lwakyo e Namboole oluvanyuma lw’okubalumiriza nti tebaafunye lukusa. Ng’ayogera n’omukutu guno, Ssemujju Ibrahim Nganda omubaka wa ppalamenti akiikirira ekibuga kye Kira era ng’eno yesangibwa Namboole yagambye nti poliisi ekutte abantu abasoba mu 20. “Olwaleero tubadde tulina kuba Namboole naye poliisi mukifo ky’okutuwa obukuumi esazeewo kutugumbulula bubumenyi bwamateeka,” bwatyo Ssemujju bweyategeezezza. Olukungaana luno lubadde lwakwogererwamu eyali ssenkaggale wa FDC Dr Kizza Besigye. Guno siggwemulundi ogusoose ng’abebyokwerinda bagumbulula enkungaana zabannabyabufuzi naddala abo abali kuludda oluwabula gavumenti.