Bya Noah Kintu
Mawogola
Abantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Mawogola bazze mu bungi okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa era bano bakung’aanidde mu magombolola ag’enjawulo okwetaba mu lutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Siriimu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/sooooo-1024x683.jpg)
Emisinde gino gikuliddwamu Muteesa w’essaza Mawogola, Sserwadda Muhammed Ssaalongo era nga yagisimbudde ku ssaza.
Ate Omumyuka wa Muteesa asooka, Suzan Namukwaya, n’asimbula abakung’aanidde ku ggombolola y’e Mateete okusobola okusigala nga batangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona mu bantu ba Beene.
Muteesa ng’ali ku mbuga e Lwebitakuli agambye nti, abantu bajjumbidde nnyo enteekateeka eno era n’abasaba banyweze ensonga balwanyise ekirwadde kya Mukenenya mu Buganda ne Uganda.
Emisinde gino gyetabiddwamu n’omu ku beesimbyewo mu ssaza Mawogola North, Aine Kaguta Sodo era nga yaguze emijoozi 100 kw’ossa okwetaba mu baatwala oluwalo embuga.
Sodo agambye nti ali mu Buganda era nga tayinza kujeemera kiragiro kya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka era ne yeeyama mu Bannamawogola okulwanirira ebintu Buganda by’ebanja singa anaaba alondeddwa okukiika mu Palamenti.
Omwami wa Kabaka Mutuba I Lugusuulu, Amida Nantume yeebazizza abantu olw’obuwulize eri Nnamulondo era n’abasaba bulijjo okujjumbira enteekateeka zonna ez’Obwakabaka.
Ate Dez Byuma Oswaldo ng’ono y’akwatidde aba NRM bbendera mu ssaza lya Mawogola, akunze abantu ba Kabaka naddala abaami okubeera abasaale mu kulwanyisa Siriimu nga Nnyinimu bwe yalagidde.
Amyuka Muteesa w’essaza Mawogola, Suzan Namukwaya era nga y’atwala ebyemizannyo ku lukiiko lw’essaza, akubirizza abantu ba Kabaka obutakoma ku kwambala mijoozi, naye omulamwa gw’okulwanyisa Siriimu bagutwale nga nsonga nkulu.