Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abakulira essaza lya Beene erya Mawogola n’Omumyuka wa Muteesa, Suzan Namukwaya, balambudde pulojekiti ez’enjawulo ezikolebwa ku ttaka ly’essaza okukuba ttooci we zituuse wamu n’okusoomoozebwa okuboolekedde.
Bano abaakedde okulambula Pulojekiti zino wamu n’okuziteesaako ssabbiiti ewedde ku kitebe ky’essaza, baalaze okusoomoozebwa olw’abantu aboogera okwesenza ku ttaka lino n’okwonoona ezimu ku pulojekiti ze balinako.
Omumyuka wa Muteesa, Suzan Namukwaya, yannyonnyodde nti ekizibu ky’abeesenza ku ttaka lino kinene era nga bayise abeesenzaako okulaba engeri gye bagonjoola ekizibu kino nga bali wamu.
Oluvannyuma lw’okulambula pulojekiti zino, Namukwaya yagambye nti batunuulidde okwongera ku pulojekiti ze balina nga balima kasooli wamu n’ebijanjaalo, kibayambe okwongeza ku nnyingiza y’essaza.
Alabirira pulojekiti z’essaza, Mutumba Deogratius yalaze ng’olusuku lwa yiika 15 lwe balina bwe luyambye era nga bafunamu ssente eza buli mwezi.
Ono yagasseeko nti kuno baali bagasseeko emmwanyi wabula nezikosebwa omusana era nga bategeka kusimbamu ndala sizoni ejja.
Mutumba yategeezezza nti olusuku luno luyambye nnyo abantu mu Ssembabule nga abasinga mwe bagula emmere awatali kugenda walala naye ng’ekizibu kye balina akadde kano bwe bubbi bw’emmere obuyitiridde mu kitundu kino.
Ayabadde omukubiriza w’olukiiko luno, Ssesanga Noordin, yalaze obwetaavu bw’okwongera ku pulojekiti z’essaza.
Mu birala bye bagenda okukola mulimu okulunda ente n’embuzi, kisobozese okugaziya ennyingiza y’essaza era kiyambe okuyimirizaawo ttiimu y’omupiira ey’essaza n’emirimu emirala.