Bya Kintu Noah
Ssembabule
Abakulembeze b’essaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Mawogola, bafunvubidde okubunyisa ekiragiro kya Beene wansi mu bantu be, nga beetegekera okujaguza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu olwokubaawo nga 8/October 2020 ku lunaku lw’ameefuga ga Buganda ag’omulundi ogwa 58.
Olunaku lw’omulundi guno lugenda kukuzibwa wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Abaami n’obutondebwensi’ era nga gugenda kukwatibwa mu ngeri ya Ssaayansi wali mu Lubiri e Mmengo.
Kino kikoleddwa wakati nga beeteekateeka okujaguza olunaku lw’ameefuga ga Buganda, Nnyinimu lwe yawaayo ne lufuuka olwa Bulungibwansi wamu ne gavumenti ez’ebitundu nga lukuzibwa buli mwaka ng’ennaku z’omwezi 8/October.
Olunaku lwa leero ku Mmande, Muteesa Sserwadda Muhammed awamu n’omumyuka we Suzan Namukwaya, baakedde kukunga bantu ba Beene era nebabakulemberamu okukola bulungibwansi mu kitundu kino.
Batandikidde ku ggombolola y’e Mateete gye balimye, okusaawa omuddo wamu n’okwera ekitundu kino kyonna era Muteesa asinzidde wano n’asaba abantu okukuuma obuyonjo era bajjukirenga olunaku luno.
Muteesa ategeezezza nti Nnyinimu yabawa ekiragiro ng’ayita mu Katikkiro Charles Peter Mayiga era n’abalagira okunnyonnyola abantu be ebikwata ku lunaku luno era babagazise okukola Bulungibwansi era nga kino akikoze mu makanisa, emizikiti awamu n’ebifo ebirala.
Omumyuka wa Muteesa, Namukwaya yennyamidde olw’ebyobufuzi ebiyawuddeyawuddemu abantu mu kitundu kino nebatuuka n’okwegwa mu bulago.
Namukwaya asabye bannamawogola okwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona nga bakuuma obuyonjo okutandikira mu maka gaabwe kubanga ekirwadde kino kirina akakwate ku bucaafu.
Akulembera eggombolola y’e Mateete ku lwa Ssaabasajja, Sekyewa Hillary yeebazizza abantu okuvaayo n’ebayonja n’asaba gavumenti eyaawakati okulabanga eteeka mu nkola ensonga y’okulwanyisa obuveera nti kuba bw’ononye nnyo obutonde bwensi.
Abamu ku bantu abeetabye mu nteekateeka eno Dez Byuma Oswaldo ategeezezza nti babadde balina okubeera abawulize ku kiragiro kya Beene ekibalagira okukola bulungibwansi awamu n’okukuuma obuyonjo.