Bya Ssemakula John
Luweero
Alina bbendera y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu lutabaalo lw’obwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), yasabye bannaluweero okukulemberamu okuggyako Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga balonda Kyagulanyi mu kalulu ka 2021.
Kyagulanyi okusaba kuno yakukoledde ku kisaawe ky’e Ngogoro mu Luweero ne ku ssomero lya Kamuli Church of Uganda Primary school e Nakaseke ku Lwokutaano, bwe yabadde anoonya obululu.
“Mmwe mutambulira ku malaalo buli kaseera, ebiwundu ebyo tebinnakala tebinnava ku mwoyo, Museveni yali abategeezezza nti ebyo byonna yali ssaddaaka okufuna Uganda empya. Amazima amatuufu singa yali ayogera mazima singa Nakaseke, Luweero ne Bulemeezi, singa ebintundu byanjawulo.” Kyagulanyi bwe yagambye.
Kyagulanyi yannyonyodde nti wadde nga Luweero ne Nakaseke be baaleeta gavumenti eno mu buyinza era nga batambulira ku buwanga bw’abafu, naye y’esingamu ekibbattaka ate nga n’abaafiirwa ebyabwe tebayirirwanga ate nga n’enguudo mu kitundu kino mbi nnyo.
Omubaka wa Nakaseke South mu Palamenti yategeezeza nti Museveni akolera mu kutya naye n’asaba abantu okubeegattako kubanga eno y’essaawa y’okununula Uganda.
Ate ye Allan Mayanja akwatidde aba NUP bbendera ku bubaka bwa Nakaseke Central yalaze nti yonna mu byalo abantu beetegefu okumma Museveni akalulu kubanga abalimbidde ebbanga.
Disitulikiti y’e Luweero ne Nakaseke ze zaali entabiro y’olutalo olwaleeta Pulezidenti Museveni mu buyinza wakati wa 1981- 1986, era okuva olwa Pulezidenti Museveni azze awangulira waggulu mu bitundu bino.
Mu kalulu akasembyewo aka 2016, Museveni yafuna ebitundu 76.2%, Kizza Besigye’s 21.2 % ku bululu 64,557 obwakubibwa mu Nakaseke yonna. E Luweero Museveni yafuna obululu 71,382 by’ebitundu 55.78 ku 100 ate Besigye n’afuna obululu 53804 ebitundu 41.1 ku buli 100.