Bya Betty Namawanda
Kyotera – Buddu
Abakulira eddwaliro ekkulu erya Kaliisizo Hospital mu disitulikiti y’e Kyotera, balaajanidde gavumenti ebafunire ekyuma ekikebera n’okukuba ebifaananyi ekiyitibwa X-Ray, kisobole okubayambako okujjanjaba obulungi abalwadde abazuuliddwamu COVID-19 wamu n’ebirwadde ebirala.
Bano bagamba nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kitabuse nga kati abantu lukumi (1000) okwetooloola Kyotera yonna, kizuuliddwa nti bakirina nga ku bano 9 baamaze dda okufa okuli n’omusawo.
Akulira eby’obujjanjabi ku ddwaliro lino, Dr. Ssekyeru Emmanuel, okuwanjaga kuno yakutuusizza eri omubaka wa Kyotera mu Palamenti, John Paul Lukwago Mpalanyi , bwe yabadde alambula eddwaliro lino okulaba embeera bw’eri n’okubawa ebyeyambisibwa.
Dr. Ssekyeru yannyonnyodde nti ekyuma kya X-Ray bakyetaaga nnyo mu kaseera kano kuba balina okulaba embeera y’amawuggwe g’abalwadde ba COVID-19 bw’eyimiridde ate nga n’omuwendo gw’abalwadde abalala abeetaaga ekyuma kino nagwo mungi.
Ono era yasabye babafunire ku mukka ogussibwa ogwa ‘Oxgyen’ kuba balina sirinda eziwerera ddala 10 kyokka ebyembi balina kusooka kuzitwala Kampala okusobola okufuna omukka guno, ekintu ekibasoomooza ennyo.
Yasiimye omubaka Mpalanyi olw’okubawa ebikozesebwa okujjanjaba aba COVID-19, nti kino kijja kukendeeza ku muwendo gw’abasawo abakwatibwa ekirwadde kino.
Ono era yasabye ne gavumenti okulowooza ku kasiimo k’abasawo abajjanjaba obulwade bwa kovid e Kyotera kubanga tebakalabangako.
Ye Omubaka John Paul Lukwago Mpalanyi bwe yabadde abakwasa obuyambi buno, omwabadde ebyambalo eby’okwambalibwa abasawo, eddagala, Ssabbuuni n’ebirala, yagambye nti okukola kino yamaze kulaba ng’embeera esajjuse ate ng’abakwatibwako ku nsonga y’ebyobulamu tebafuddeeyo, ne yeewuunya embeera eri mu ddwaliro etuusizza okubulwa ekyuma kya X-ray ne oxygyen n’ebirala.
Ate ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo, yalabudde abatuuze okukomya okukaabira ku mirambo gya COVID-19 n’okuginaaza nti kino kye kimu kubiviiriddeko obulwadde buno okwegiriisa mu Kyotera.
Bo abatuuze basanyukidde nnyo ekyo ekyakoleddwa omubaka John Paul Lukwago Mpalanyi olw’okutaasa obulamu bw’abatuuze n’abasawo.
Omubaka Mpalanyi era aliko abakulembeze ba boodabooda n’aba takisi ku Sport Highway e Kaliisizo n’abawa akawunga n’ebijanjaalo, basobole okuliisa famire zaabwe mu muggalo guno.