Bya Betty Namawanda
Buddu – Kyotera
Ab’enganda z’abantu abaawambibwa ebitongole bye by’okwerinda ku kyalo Kisamula mu ttawuni kkanso y’e Kyotera mu disitulikiti bye buvuddeko, bawanjagidde akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, bannamateeka n’ebitongole ebyenjawulo, okuvaayo bayingire mu nsonga zaabwe basobole okufuna ku buwerero.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/IMG-20210305-WA0032-1024x682.jpg)
Kinajjukirwa nti nga 8/01/2021 abantu 18 okuva ku kyalo Kisamula baawambibwa ab’ebyokwerinda nga babajja mu mayumba gaabwe mu matumbi budde.
Ku bano kuliko; Kiwanuka John, Kyambadde Sulait, Lusembo Frank, Ssebugenyi Derrick, Muwonge Vincent Lubega, Luyobya Javira, Nyombi Shafik, Kakinda Andrew, Ngobye Emmanuel, Muwonge Ronald, Mukasa Muhammad, Kyazze Barak, Kawuki Ronald, Kawenja Ivan, Kyakuwa Mahad, Ssegiriinya Emmanuel n’abalala kyokka ng’abeng’anda zaabwe bagamba nti babalanga bwemage.
Ab’enganda nga bakulembeddwamu Maria Najjemba, Kyeyune Nasiru Ntakire, Joanita Nakato, Namatovu Asimati n’abalala, bakung’aanidde mu maka g’omu ku baawambibwa Kiwanuka John ne munnamateeka Alexander Lule owa Xander & Co. Advocates abayambako okugoberera ensonga zino ne bategeeza nti kati bakugenda mu kkooti wiiki ejja batwaleyo omusango ogubanja abantu baabwe.
Okusinziira ku Lule, mu bitundu ebirala abantu gye baawambibwa bagezaako okuzzaako abamu wamu n’okutegeeza nti be babalina naye e Kyotera tewali kye baali bategedde nga bawandiise amabaluwa wamu n’okutuuka mu makomera ag’enjawulo okuli Kitalya naye abantu baabwe tebalabikako.
Lule yategeezezza nti yasoose ku kitebe Kya poliisi e Kyotera era ne bamutegeeza nti tebamanyi bantu bano gye bali n’asaba ab’enganda okubeera n’essuubi ssaako n’okusigala nga bakkakkamu kuba kkooti ejja kulagira abantu bano baleetebwe.
Ab’enganda balumirizza nti ensonga ezaakwasa abantu baabwe za byabufuzi era baatwalibwa abantu abaali mu byambalo bya poliisi nga balina emmundu. Bano bagattako nti wadde abakulembeze baabwe naddala omubaka Mpalanyi baagezezaako okubayamba naye embeera mbi mu kadde kano kuba abaatwalibwa be baali babayimirizaawo n’okubanoonyeza eky’okulya.
Wano we basinzidde ne basaba Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi okuyingira mu nsonga zaabwe kuba bano ekyabakwasa kwali kumuwagira mu kalulu ka 2021. Bano bawanjagidde ababaka ba palamenti, ebitongole bya gavumenti nabuli asobola okubayamba bazuule abantu baabwe.