Bya Stephen Kulubasi
Kyabakadde – Kyaggwe
Emiranga, ebiwoobe n’okwazirana bibuutikidde Ekeleziya ya St. Charles Lwanga e Kyabakadde ng’omulambo gwa Ssaabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga gutuusibwa, abatuuze n’abakkiriza basobole okumusiibula.
E Kyabakadde wabadde wategekeddwayo ekitambiro ky’emmisa okuwa abatuuze n’abakkiriza mu kitundu ekyo omukisa okukuba eriiso evannyuma ku mwagalwa waabwe.
Omulambo gwa Ssaabasumba Lwanga gutwaliddwa mu Namunkanga y’amagye okuva ku kisaawe ky’eggwanga e Kololo gye gwasoose okukungubagirwa n’okumukubira emizinga. Eno gwayaniriziddwa Omusumba w’e Lugazi,
Christopher Kakooza ne munne gwe. yaddira mu bigere, Omusumba Matiya Ssekamanya wamu n’eyaliko omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, Dr. Specioza Wandera Kazibwe naye omwana enzaalwa ey’e Kyabakadde.
Ekitambiro kya mmisa kikulembeddwamu Omusumba Christopher Kakooza era omuwandiisi w’Abeepisikoopi Ssaabasumba b’abadde akulembera nga ssentebe era n’alaga obwennyamivu olwa ssentebe okubafaako. “Ssaabasumba Lwanga abadde ddoboozi ly’abo abalina eddoboozi ettono oba abatalina.” Omusumba Kakooza bw’akkaatirizza.
Omusumba Kakooza agambye nti omugenzi abadde munnabyankulaakulana atasangika n’anokolayo ebimu ku by’akoze ng’okutumbula essaza lya Kasana-Luweero gye yaweereza ng’Omusumba waalyo eyasookera ddala, okuyooyoota Lutikko wamu n’ekiggwa ky’abajulizi e Namugongo.
Omugenzi yazaalibwa ku kyalo Kyabakadde nga January 19, 1953. W’afiiridde ng’atumbudde ebyenkulaakulana ku kyalo kino omuli n’okubazimbira essomero St. Cyprian Kizito Secondary School -Kyabakadde.
Ssaabasumba Lwanga yatandikawo ekigo ky’e Kyabakadde n’akizimbako ne Ekeleziya era nga muno mwe bamutambiridde emmisa n’okumusiibula.
Okusinziira batuuze, Ssaabasumba Lwanga abadde atera okugenda Ku kyalo kino n’ayimbirayo emmisa naddala ku nnaku enkulu, ekintu ekibadde kikakasa abantu nti ekyalo Kyabakadde kimusula ku lufuba.
Okusaba kwetabiddwamu abasomesa n’abayizi okuva ku ssomero ly’omugenzi, abakungu okuva mu gavumenti eyaawakati n’abakungu ba Ssaabasajja abakulembeddwamu Omutaka Gabunga okulira ekika ky’Emmamba, Omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga mw’abadde azaalibwa.