Bya Joseph Kayemba
Masengere – Mmengo
Abakulembeze ba disitulikiti y’e Mukono mu Kyaggwe awamu n’e Kayunga mu Bugerere, batandise kaweefube w’okutereeza n’okunyweza obusenze bwabwe ku ttaka lya Kabaka naddala eryo erituddeko ebitebe bya disitulikiti zino.
Bano nga bakulembeddwamu akulira abakozi mu disitulikiti y’e Kayunga (CAO), Roselin Adong ne ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Peter Bakaluba Mukasa, basisinkanye abakulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka lya Kabaka ekya Buganda Land Board (BLB) okulaba engeri gye basobola okuggusa enteekateeka eno.
Ssenkulu wa Buganda Land Board, Omuk. Simon Kaboggoza abeebazizza olw’okumanya ekituufu kuba ettaka kwe batudde lya Buganda ng’ekyokujja okunyweza obusenze bwabwe, kyakwongera okutumbula enkolagana.
“Tufunye ttiimu ey’abakulembeze okuva e Mukono nga bakulembeddwa ssentebe wa L.C5, Rev. Bakaluba Mukasa nga bazze okutandika ku lugendo lw’okutereeza obusenze bwabwe ku ttaka ly’Obwakabaka. Tubayisizza mu mitendera egibalaga biki bye basuubiramu.” Omukungu Kaboggoza bwe yannyonnyodde.
Omukungu Kaboggoza agamba nti disitulikiti ezisinga zibadde tezinnajjumbira nteekateeka eno wadde Ssaabawolereza wa gavumenti yali abalung’amizza ku ndagaano eyazza ebintu bya Buganda n’engeri gye basobola okusigala nga babikoleramu.
Ono yannyonnyodde nti amazima gasaana okumanyibwa era abali ku ttaka ly’Obwakabaka balina okumanya nti engeri yokka gye basobola okubeera ku ttaka lya Buganda, kwe kuba nga balina ebiwandiiko ebituufu ebirung’amya obusenze bwabwe.
Abakulu ku njuuyi zombi bakkiriziganyizza okuteekawo akakiiko okuzuula ettaka lyonna erikozesebwa disitulikiti zino okuli Kayunga ne Mukono ery’Obwakabaka era mu bwangu ddala kano kajja kutongozebwa okutandika emirimu.
Bino we bijjidde ng’abakulu ba disitulikiti ezimu bakyalemedde mu bizimbe by’Obwakabaka wadde nga gavumenti yali ebizizzaayo mu mikono gy’Obwakabaka.