Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangaalira mu ssaza ly’e Kabula okuva mu ggombolola 4, bakedde kukiika Mbuga mu nteekateeka ya Luwalo Lwaffe.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ye yatikkudde Oluwalo luno n’akuutira abaami ba Kabaka okweyambisa ebintu by’Obwakabaka ebiri mu bitundu byabwe ng’embuga, okutuusa enkulaakulanya ku bantu ba Kabaka nga batumbula ebyenfuna.
Ono entanda eno yagiweeredde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bwe yabadde atikkula Oluwalo.
Owek. Nsibirwa era asabye abazadde okufaayo ennyo ku nkuza y’abaana n’ategeeza nti abalenzi bangi basuuliddwa muguluka ekitadde ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso mu katyabaga.
Ate ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joesph Kawuki, yeebazizza abantu ba Kabaka mu Kabula olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo.
Bano bakulembeddwamu omwami atwala essaza lino Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi baaloopedde Owek. Nsibirwa ekirwadde kya Kalusu ekimazeewo ebisolo byabwe.
Eggombolola ezikiise kubaddeko; Ssaabaddu kinuuka, Mumyuka Kasagama, Ssaabawaali Kaliro ne Ssaabaddu Lyantonde.
Ate bo bannakyaggwe okuva mu ggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe bakiise Embuga ne baleeta ebirabo (Amakula) bya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka. Bano nga bakulembeddwamu kkansala w’abakyala omulonde ow’ekitundu kino, Bitaamisi Nabweteme, bakiise n’ebintu ebyenjawulo okuli; emmere , ebisolo n’ebintu ebirala.
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu yabatikkudde Amakula era n’abasaba abazadde okuyambako abaana baabwe batumbule ebitone bye balina kuba mudda bisobola okubafuukira omulimu.