Bya URN
Eyavuganyaako ku bwapulezidenti munnamagye eyaganyukka Dr Kizza Besigye akwatiddwa mukubuga Jinja.
Ono yaggyiddwa ku wootereri ya Sunset gyeyasuze, nga weyabadde agenda okuva okukuba olukungaana lw’ebyobufuzi mu kibuga Jinja olwaleero.
Wooterri eno yasoose kwetooloolwa basirikale abali mu
yunifoomu n’engoye ez’abulijjo ng bano baabadde bafuuza buli mmotoka eyitawo
okulaba oba Besigye mwali naye nga buteerere.
Ku ssaawa nga ttaano Besigye yavudde mu wooteeri nasanga
abasirikale ba UPDF abaamukutte yogaayoga nga bali ku poliisi y’e Nalufunya.
Eggulo Besigye yalemeseddwa okusisinkana bawagizibe mu
ddisitulikit y’e Bugiri nga ate ku Mande yalemesebwa okukuba olukungaana e
Njeru mu Buikwe.
Omubaka wa gavumenti e jinja , Erick Sakwa yagambye nti buli
Besigye bwakyalako mu Busoga wabaayo ddukadduka.
Atwala poliisi y’e Kiira Paul Nkore yagambye Besigye baamukutte
okumulemesa okukuba olukungaana olumenya amateeka.
Abawagizibe beecwacwanye oluvanyuma lw’okukwatibwa era poliisi neebakubamu omukka ogubalagala.