Bya Ssemakula John
Buvuma
Abatuuze mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Buvuma, beekubidde enduulu ku ba National Oil Palm Project (NOPP) egendereddwamu okulima ebinazi mu kitundu kino, nga bagamba nti batandise okukozesa ettaka lyabwe nga tebannabasasula.
Bano abasoba mu 20 nga bawangaalira ku kyalo Bubanzi mu ggombolola y’e Busamuzi, bagamba nti wadde baapima ettaka lyabwe era ne babalirira ssente buli omu z’alina okufuna, naye n’okutuusa kati tebalabanga wadde ekikumi.
Bano basabye gavumenti eveeyo ebasasule nga pulojekiti eno tennatandika wadde ng’ebimotoka bigunduuza byatandise dda okusenda ebibanja byabwe.
“Kituufu baatubala era ne batulaga ssente ze tugenda okufuna buli omu, naye n’ebiraga ssente ze tulina okufuna baabitutwalako ku mpaka. Banyonoonedde ebitooke byange, abaana bange tebakyalina kye balya. Kati ndi mu kupakasa.” Omu ku batuuze bano, Agnes Nakamyuka.
Ono yalaze obweraliikirivu nti bano bayinza okuba nga bali ku mupango gwa kubanyaga naye n’awera nti nabo ku mulundi guno bwe batagenda kukombya gavumenti eno ku kalulu.
Ate ye Peter Mugabe yategeezezza nti okuva lwe baabapima, baabagaana okuddamu okukozesa ettaka lyabwe ate nga mwe baggya eky’okulya ekintu ekikosezza ebyenfuna byabwe.
Wabula Omukwanaganya wa Pulojekiti ya NOPP, Gerald Epai yagumizza abatuuze bano n’abategeeza nti bagenda kusasulwa mu bwangu kubanga emitendera gyonna emikulu bagimalirizza.
“Twakola nabo endagaano era ne tukkaanya ku ssente buli omu z’alina okufuna. Endagaano baazikola era ne baggulawo ne akawunti, ekibadde kibulamu kya mubalirizi wa gavumenti kubakakasa.” Epai bwe yagambye.