
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Abakungu okuva mu Bukama bwa Bunyoro batenderezza enteekateeka y’ Ekisaakaate Gatonnya 2023 etegekebwa ekitongole ki Nnabagereka Development Foundation gyebagambye nti eri ku mulamwa era esobolerera ddala okuzza Obuntubulamu mu bantu.
Bino abakungu bano babyogeredde Kyaggwe ku ssomero lya Muzza High School ewakubiddwa embuga y’ Ekisaakaate 2023 ku Lwokuna mu kulambula kwebakoze okulaba ebikolebwaayo n’okubaako byebayiga.
Abekitinisa bano ababadde bakuliddwamu Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru, Phillip Katahoire Atwoki ne Dinah Kasangaki ow’Ekikula ky’abantu beebazizza Nnaabagereka olw’okutumbula ennono n’obuwangwa nebasaba abalala okumulabirako bweba baagala obuntubulamu okudda mu bantu.

Abakungu bano balambudde Abasaakaate bebasanze nga bayigirizibwa engeri entuufu ey’ okutegekamu oluwombo n’eddagala entuufu ezirina okweyambisibwa okuggyayo obulungi omulimu guno.
Ababanguzi b’ Ekisaakaate bategeezezza nga abayizi bwebayigirizibwa ebintu ebyenjawulo naddala ku buwangwa bwabwe, ennono n’empisa ez’obuntubulamu naddala ku miramwa omuli Laba, Yiga, Kola wabula omwaka guno essira liteereddwa kukuttukiza obusobozi obukusike ku lw’ enkulaakulana.
Ssenkulu w’ekitongole ki Nnabagereka Development Foundation, Omuk. Adrian Mukiibi ategeezezza nti Buganda erina enkolagana ey’enjawulo n’Obukama bwa Bunyoro okulaba ng’ embeera z’abantu babwe zitereera.
Omuk. Mukiibi annyonnyodde nti okusomoozebwa n’ebizibu abaana byebasanga byebimu e Bunyoro ne Buganda nga singa abakulembeze bonna bakwatira wamu , Uganda ey’enkya ejja kwesiimisa.
Ekisaakaate ky’omwaka guno kyetabiddwamu abayizi abawera 500 nga kye ky’omulundi ogwe 16 nga kitegekebwa era kyakuggalwawo nga 21 omwezi guno ogwa Gatonnya.









