Musasi waffe
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka e Bungereza Oweek. Ronald Lutaaya ng’ali wamu n’omumyuka we Oweek. Muguluma Kasim baleese ensimbi Shs 5,922,000 ezaava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egyaliwo mu Kafuumulampawu. Abantu ba Kabaka ababeera e Bungereza bebamu kwabo ab’egatta ku bali mu Uganda okudduka emisinde mu nteekateeka y’okujagulizaako Omutanda amazaalibwage ag’omulundi 64. Mukubatikkula ettu lino, Minista avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ababeera ebweru wa Buganda, Oweek. Joseph Kawuki, asiimye nnyo abo bonna abeetaba musinde gino. “Tulina essuubi nti kati omulamwa omuggya ogw’okulwanyisa mukenenya gutandise nga ate Kabaka ye munyenye y’okulwanyisa mukenenya mu Uganda. Tusuubira nti bannaffe abateetabaamu omulundi guli banaasobola okwetabamu nga 5/04/2020,” Kawuki bwategeezezza.