
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amis Kakomo akuutidde abantu ba Kabaka okuva mu ssaza lye Buluuli okunyweza okulima emmwaanyi basobole okugoba obwavu era bakulaakulane.
Obubaka buno Owek. Kakomo abuweeredde Bulange e Mmengo kulwa Katikkiro ku Lwokuna bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 7 n’okusoba obuleeteddwa abantu ba Beene okuva e Buluuli.
Owek. kakomo bano era abasabye okunyweza obumu era beegatte bweba baagala okulaakulanira awamu nokugoba obwavu era bakole buli kimu okulwanyisa endwadde.
Oluwalo luno luvudde mu ggombolola okuli Mumyuka Kakooge, Musaale Wabinyonyi, Mutuba I Nakitoma, Ssaabawaali Kalungi, Ssaabaddu Nabiswera, Mutuba IV Nakasongola ne Ssaabagabo Kabyata Bubiito mu ssaza Buluuli.
Ye Ssabawolereza wa Buganda era Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Owek. Christopher Bwanika asabye abazadde okuyigiriza abaana empisa y’okusonda oluwalo, era naabebaza olw’okwagala Ssabasajja Kabaka.
Omwami we’Ssaza Buluuli Kimbugwe Gerald Kyanjo yeebazizza abakulembeze b’amagombolola agakiise embuga olw’obujjumbize bwebalaze mu luwalo luno.
Mu luwalo luno ensimbi obukadde bwa silingi 7,540,000/= bwebusondeddwa okuyambako okutambuza emirimu gya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.








