Bya URN
Bukomansimbi
Bannakibiina ki National Resisitance Movement (NRM), mu Bukomansimbi bawandiikidde Ssaabawandiisi w’ekibiina Kasule Lumumuba nga beemulugunya ku nsala y’akakiiko akagonjoola emivuyo n’okwemulugunya okwava mu kamyufu nga bagamba kyebasazeewo ku kkaadi ya Bukomansimbi North kyabadde mu bukyamu.
Bano nga bakulembeddwa ssentebe w’ekibiina mu Bukomansimbi, Shafic Mwanje ne ssentebe w’abavubuka Alex Kigudde bawakkanya eky’okusazzaamu obuwanguzi bwa Hajji Lubyayi Kisiki.
Ku Lwokutaano oluwedde, akulira akakiiko k’ekibiina akatunula mu kwemulugunya Enoch Barata yasazizzaamu okulondebwa kwa Lubyayi Kisiki nalangiriramu Ruth Katushabe.
Okusinziira ku Barata, bwebaali balangirira ebyava mu kamyufu balekayo ebyali bivudde ku kyalo Kipeyu ne Kikaayu era nga eno y’ensonga lwaki Katushabe yadduukira mu kakiiko nga yeemulugunya.
Ensala ya Barata etabudde bannakibiina mu Bukomansimbi era nga abawerako bakakasizza nga bwebatagenda kugigondera wamu n’okutiisatiisa okuva mu kibiina.
Ssentebe Mwanje asabye Ssaabawandiisi Lumumba atunule mu nsonga eno era asazeemu ensala eno, anoonyereze ne ku bakulu abatuula ku kakiiko kano. Mwanje agambye nti ensonga eno singa tekwatibwa mu bwegendereza egenda kwabuluzaamu ekibiina mukitundu kino.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM e Bukomansimbi yali yalangirira Kisiki ku buwanguzi n’obululu 8,130 ate nga Katushabe yalina 6,167.
Wabula oluvanyuma lw’ akakiiko okutunula mukwemulugunya kwa Katushabe kamulangiriddde ku buwanguzi n’obululu 9,085 ate ye Lubyayi nga alina 8,972.
Lubyayi naye ebivuddemu mu kakiiko yabigaanye nga agamba nti bya bulimba.
“Okuwangula kwange kwaggwa dda naye lwakuba mbadde saagala obutagyira mu kibiina kubanga luli abantu bange bayisibwa bubi nnyo babakuba naye kati bo be balina omusango kuba nawangudde bulungi, katubalinde tulabe,”Kisiki bw’ agambye.
Omwogezi w’ekibiina ki NRM, Rogers Mulindwa asabye abatamatidde obutaabulira kibiina naye banoonye engeri endala gyebasobola okumalawo obutakkanya obuliwo.
Ate ye akulira okunoonyeza Katushabe akalulu, Joseph Mukasa Ssewava, awadde Kisiki amagezi akkirize ebyasaliddwawo kuba naye ekituufu akimanyi.