Bya Jesse Lwanga
Bugerere
Abatwala essaza lya Ssabasajja ery’e Bugerere, batandise kaweefube w’okutalaga amagombolola agasangibwa mu ssaza lino n’ekigendererwa okutumbula emirimu mu bantu baabulijjo wamu n’okumanyisa abantu mu kitundu kino ensonga za Buganda.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/hahah-1.jpg)
Okusinziira ku mumyuka wa Mugerere asooka, Hajji Bashiri Ziraba, agamba nti kaweefube ono bamutadde mu ggombolola zonna era nga baagala okugatta abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu kitundu kino.
Okubangulwa okusoose kubadde mu ggombolola ya Musaale Kangulumira esangibwa mu ttawuni kkanso y’e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga.
Omumyuka wa Mugerere, Ziraba, asinzidde wano n’ategeeza nti wadde ekitundu kino kirimu amawanga ag’enjawulo, naye balina okusigala ng’abantu bamwo bamanya Obwakabaka ne Ssaabasajja Kabaka, okusobola okutambulira awamu.
Ye omukubiriza w’oukiiko lw’eggombolola eno, Sheikh Awusi Nkugwa, annyonnyodde nti essira bagenda kuliteeka ku by’enkulaakulana era batumbule embeera z’abantu abasangibwa mu Kangulumira wamu n’essaza lyonna ery’e Bugerere.
Ziraba ayanjudde omw. Yusufu Kiggundu agenda okuba ng’akola ng’omwami w’eggombolola eno, Musaale Kangulumira, oluvannyuma lwe yali agitwala okufa era Kiggundu asuubiza okunyweza wamu n’okukuuma ebintu bya Buganda ebisangibwa mu kitundu kino.
Kiggundu agamba kano ke kaseera essaza ly’e Bugerere nga liyita mu ggombolola emukwasiddwa, okufuuka eky’okulabirako eri amasaza amalala mu Buganda.