Bya Benard Ssengoonzi
Omuvubuka ow’emyaka 35 akwatiddwa poliisi mukibuga Mbarara nga kiteberezebwa okubba abantu nga akozesa eky’efananyiriza emmundu.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekya Rwizi mu Mbarara Samson Kusasira ategezezza nti omuvubuka ono akwatiddwa bamuyita God Byaruhanga era nga abeera ku kyalo Nyakitunda mu disitulikiti y’e Isingiro.
Kusasira ategezezza nti Byaruhanga ne munne abadde amuyambako okola obubbi baakwatibwa ekiro ekiwedde ku kyalo Nkokonjeru mu divizoni y’e Kamukuzi gyebabadde bagezaako okubbira boda boda.
Wabula ebyembi oluvanyuma lwabano bombi okukwatibwa ye munne wa Byaruhanga yadduse era nga Byaruhanga ategezezza nti ono yabadde abakulira.
Kusasira ayongedde nategeza ng’ekikwekweto kino bwekyaleka abatuuze b’e Boma ne Nkokonjeru nga bakaaba oluvannyuma lwababbi bano okubeera n’ebyokulwanyisa era nga mukiro ekyo baatulugunyiziddwa.
Omu kubatulugunyiziddwa ababbi bano Agnes Kwalikunda, ategezezza nti lumu yali ava ku mulimu n’akubibwa ababbi era nebatwala ensawoye ng’erimu emitwalo etaano n’essimuye era paka leero tabifunanga.
Kusasira ayongedde nategeeza nga ababbi bano bwebakozesa obudde bwa kafyu okutulugunya abatuuze era newankubadde kafyu akyaliwo obumenyi bw’amateeka mu Mbarara bweyongedde era nga ku lunaku olw’omukaaga nga bakwata abasajja babiri mu bitundu bye Nyarubanga mu divizoni y’e Kakyeka mu kibuga Mbarara nga babbye ente era nga bajitwalira mu motoka ey’ekika kya Wish namba UBF 859X era akubirizza abatuuze okubeera obulindaara eri ebintu byabwe.