• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abazzukulu Tubaagazise Ebika Byaffe – Minisita Wamala

Gambuuze by Gambuuze
May 24, 2025
in Amawulire
0 0
0
Abazzukulu Tubaagazise Ebika Byaffe – Minisita Wamala
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Owek. Anthony Wamala Minisita w’Obuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka akuutidde abakulumbeze mu Bika okusala amagezi gonna okwagazisa abazzukulu ebika mwe bava.

“Abazzukulu bwe banaayagala ensibuko zaabwe mu bika bajja kusobola okwetaba mu mirimu egikolebwa ebika” Minisita Wamala

Owek. Wamala amagezi g’awadde, bwe bukulembeze bw’Ebika okutekawo enteekateeka ezikulaakulanya ebika, okulongoosa Embuga n’obutaka bw’Ebika, okutondawo emikisa egiganyula abazukkulu mu byenjigiriza, ebyobulamu n’ebyenfuna olwo Ebika bigatte butereevu ku kaweefube w’okuzza buganda ku ntikko.

Okwogera bino byonna Minisita Wamala abadde alambula obutaka bw’Ebika okuli; Eky’e Nkima e Mbuya ne Olulyo Olulangira.

“Buganda okudda ku ntikko, Ebika birina okulafuubana okumyweza obukulembeze bwabyo okusobola okutema empenda ezinaabikulakulanya naddala ku butaka bwabyo nga enkulaakulana ezo ze zinaasikiriza abazzukulu okwetaba mu mirimu gy’Ebika byabwe” Owek. Wamala.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba ng’ono atambudde ne Minisita mu kulambula kuno, alabudde abantu abavvoola Obuwangwa bwa Buganda, ategeezeza nti empisa ziserebye ensangi zino kubanga abantu bavudde ku buwangwa n’ennono olw’ebigambo ebikikinike ebibwogerwako ebitali bituufu, ng’abo aboogerera obubi obuwangwa bwabwe ate ne basuusuuta eby’Abagwira.

Ye Omukulu w’Ekika ky’Enkima Omutaka Mugema Charles Nsejjerere Mugwanya ll ayanjulidde Minisita ebituukiddwako Ekika, ng’agamba nti bazzukulu be bajjumbidde emirimu gy’Ekika ekibayambye okugenda mu maaso ng’Ekika. Kyokka ono asiimye nnyo okulambikibwa kwa Minisita ku nsonga z’okuzza omuggundu mu Bika era naye akunze bazzukulu be okujjumbira enteekateeka z’Ebika byabwe.

Ssaabalangira Godfrey Musanje akulira Aboolulyo Olulangira ayogedde ku nsonga y’Abayima mu Bika nga bano batunuulirwa okukuuma ebyobugagga by’Ebika ng’agamba nti bano omulimu gwabwe mukulu nnyo ddala. Asanyukidde nnyo okukyala kwa minisita eri Obutaka era ategeezeza nti bingi ebibabuuliddwa baakubiteeka mu nkola okusobola okukulaakulanya Ekika kyabwe.

Wabaddewo n’okusimba emiti ku butaka buno bwombi ng’akabonero ak’okunyikiza ensonga y’Obutondebwensi. Minisita Wamala akyagenda mu maaso n’enteekateeka y’okulambula Obutaka bw’Ebika ng’ensonga enkulu ya kuzza muggundu mu Bika naddala abazukkulu okwenyumiriza mu nsibuko yaabwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.