Bya URN
Abasirikale ba poliisi babiri n’omuntu wabulijjo omu, battiddwa mu bubbi mu Nankinga Zone e Bunamwaya mu ggombolola y’e Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ababiri abatiddwa ye Ambrose Byareta ng’ono yasangiddwa ayambadde ebyambalo bya majje ne munne Fred Turyomunsi nga musirikale akuuma etterekkero ly’emmundu.
Ayogerera ekibinja ky’amajje
ekisooka Meeja Bilal Katamba yagambye ekibinja kya majje ekituula e Lubaga nga
kikolera awamu n’abejje ekkuuma byalo baategedde ku bunyazi buno era nabaguumba
mu kitundu kino okubulemesa.
Katamba yagambye nti abasirikale bano abaabadde beegatiddwako omuntu omulala eyategerekeseeko erya James lyokka, baabadde bategese okubba omukyala ataayatuukiriziddwa mannya eyabadde ava ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe.
Kigambibwa nti Turyomunsi era abadde anonyerezebwako ku bigambibwa nti abadde apangisa emmundu eri ababbi abatigomya Kampala n’ebitundu ebiriranyeewo.
Kyokka ono yafudde okunonyereza kukyagenda mumaaso.
Bano baagezezaako okwekiika emmotoka empangise eyabadde etwala omukyala ono kyokka ab’amajje abaabadde bagumbye edde mukifo kino, nebabakuba masasi agaabatiddewo bonsatule.
Emmundu ya poliisi ng’eriko ennamba UG POL.36326006 03890 yasangiddwa ne bano.