Bya Jesse Lwanga
Kyaggwe
Ekitongole ky’ebyenjigiriza mu ssaza ly’e Kyaggwe nga kikulembeddwamu akikulira, Katabalwa Steven, batandise kaweefube w’okubangula abazadde ku ngeri y’okufunamu bbasale za Buganda.
Bano eddimu lino balitandikidde mu ggombolola ya Ssaabawaali mu disitulikiti y’e Buikwe ng’omusomo guno guyindidde ku Dairoma Hotel mu Town council ya Buikwe.
Bw’abadde ayogera eri abazadde abeetabye musomo guno, Katabalwa alung’amizza abazadde okusooka okukwatagana, kireme kuleetawo kusika muguwa singa babeera baweereddwa bbasale.
Mu ngeri y’emu, awabudde abazadde okwettanira okuweerera abaana okusoma eby’emikono kubanga emirimu weegiri. Ono awerekeddwako omumyuka we, Loy Wamala, ategeezezza nti basooka okwekenneenya nsoma ya baana n’oluvannyuma ne babawa bbasale okusinziira ku nsoma yaabwe.
Abamu ku bazadde basanyukidde enteekateeka eno kubanga ebazibudde amaaso kubanga babadde tebafuna kumanyisibwa ku nteekateeka eno.