
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire ne Kkabineeti, Owek. Noah Kiyimba asabye abazadde bakole nnyo okuteekateeka abaana babwe basobole okwanguyirwa ebiseera by’omu maaso beewale okubategekera.
Obubaka buno Minisita Kiyimba abuweeredde mu Bulange Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka abavudde e Busiro oluwezezza obukadde obusoba mu 25.
Owek. Kiyimba bano abakuutidde bulijjo okufaayo eri abaana babwe era babakulize mu mpisa nga bamanyi ennono n’Obuwangwa bwabwe kuba bano ebiseera bya Buganda eby’omu maaso kwebiyimiridde era basobole okugasa Buganda ne Uganda.

Ate ye Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki yeebaziza Bannabusiro olwokufaayo nebatuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe nasaba abalala okubayigirako.
Bo Abaami b’eggombolola ezikiise embuga nga bakulembeddwa Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza beebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okukola ennyo okutumbula embeera z’abantu wonna mu Buganda nga ayita mu nteekateeka ez’enjawulo.
Ate abakulembeze mu gavumenti eyawakati nga bakuliddwa Mmeeya wa Kyengera Ttawuni kkanso, Mathias Mpuuga asabye Obwakabaka okutegeka emisomo mu bitundu eby’enjawulo okwongera okumanyisa abantu ku nteekateeka za Buganda.
Abakiise embuga bavudde mu ggombolola okuli; Mutuba III Namayumba , Mutuba V Nakiwogo , Mutuba IV Lunnyo , Mutuba I Masuulita ne Ssaabagabo Nsangi.
Mu bano mubaddemu abayizi okuva ku ssomero lya Trinity College Nabbingo, Nanziga SDA Primary School, Pamville School – Nsangi, International Paramedical and Nursing school Maya, King’s college n’ abalala.









