
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Obwakabaka busabye abazadde okukuliza abaana mu nnono n’ obuwangwa bwabwe bakule nga babimanyi olwo basobole okunyweza Buganda era bagitaase ku beesomye okugisanyaawo.
Okusaba kuno kukoleddwa Omulangira Felix Muteesa bw’abadde atikkula Abalemeezi abavudde mu ggombolola ya Mutuba II Mukuuma Katikamu, Amakula ga Ssaabasajja mu Lubiri lwe Mmengo ku Lwokusatu.
Omulangira Felix Muteesa ategeezezza nti abaana abato gwe musingi gwa Buganda ey’enkya nga singa bateekebwateekebwa obulungi ebiseera bya Buganda eby’enkya bigenda kubeera bitangaavu.

Muteesa asabye abantu okuba obumu okwewala okweyawulayawulamu nentalo nga lwebajja okusobola okukuuma ettaka obutatwalibwa bannakigwannyizi.
Omwami wa Kabaka amulamulirako eggombolola ya Mutuba 2 Mukuma Katikkamu, Sserunjogi Cissy Nantaba alopye embuga ekibba ttaka ekisusse nakakasa nti abasinga okwenyigira mu mivuyo gino ate bebakulembeze naddala abagavumenti eyawakati.
Ye Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu akuutidde abantu okunyweza obumu era beewale enkwe bwebaba baagala okulwanyisa ekibbattaka n’ebizibu ebirala.
Mu bakiiseembuga mubaddemu abatongole ba Kabaka,abaami abemiruka, abakulembeze ku mitendera egyenjawulo nabaana ba masomero nga bano baleese ebirabo eby’enjawulo.








