Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abazadde mu Buganda okufuba okulaba nga batandikawo enteekateeka y’okusomesaza abaana awaka newankubadde nga bakyali mu kusoomoozebwa kw’ekirwadde kya Sennyiga Corona.
Bino Kamalabyonna Mayiga abiyisizza mu bubaka bwe bw’atisse Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika gw’atumye okutikkula bannasingo Oluwalo mu Bulange- Mmengo ku Lwokubiri ng’ayambibwako Minisita Joseph Kawuki.
Katikkiro Mayiga agamba nti singa Buganda tesomesa baana, ebiseera byayo ebyomu maaso byandifuuka ebizibu kuba ensi kati etambulirira ku kusoma.
“Tubakubiriza okuyiiyiza abaana baffe eby’okusoma naddala nga bakyali waka. Kubanga abaana ne bweba tebali mu masomero, basobola okubaako kye bayiga, kiyambeko okubeewaza okubeera bakireerese awamu n’okwetamwa okusoma.” Owek. Bwanika bw’annyonnyodde ku lwa Katikkiro.
Owek. Bwanika abeebazizza olw’obuyiiya ne baleeta Oluwalo era na basaba okukola okusinga okwekwasa ebisoomoozo era n’abakunga okwegatta mu nteekateeka ez’enjawulo Beene z’abawadde okulaba nga beekulaakulanya.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu n’entambula za Ssaabasajja Kabaka, Owek.Joseph Kawuki yeebazizza bannasingo olw’okusitukiramu ku nsonga z’Obwakabaka akaseera konna.
Owek. Kawuki akubirizza bannasingo okugenda mu maaso n’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka era bafeeyo okukuuma erinnya lyabwe mu kiseera ky’obuweereza awamu n’ekiseera nga bavudde mu bifo.
“Amannya gaffe ge tufuna nga tukola obuweereza bwa Kabaka, gatubeerere eky’omuwendo eri abaana baffe n’abazzukulu kuba obuweereza butuwa omukisa n’enkizo.” Minisita Kawuki bw’asabye.
Omumyuka wa Mukwenda owookusatu, John Vianney Kasumba ategeezezza nti basoomoozebwa nnyo omusana ekizing’amizza ennyingiza yaabwe ate nga beesigamye ku byabulimi okusinga.
Abakiise embuga kubaddeko abantu ba Beene okuva mu ggombolola nnya ezikola essaza Ssingo okubadde; Mutuba1 Bukuya, Musaale Bulera, Ssaabaddu Kassanda ne Mutuba musanvu Myanzi.