![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/07/Okwalinga.png)
Abaana 22 mu disitulikiti y’e Pallisa bafunye embuto mubbanga ly’omuggalo ogwalangirirwa ku ggwanga mu gw’okusatu omwaka guno.
Okusinziira ku akulira eby’abaana mu disitulikiti, ku misango gy’abaaana abali mu kibiina ky’omusanvu okufuna embuto, etaano gyaloopebwa ku poliisi, 11 ku kibiina ky’obwannakyewa ekya Action Aid ate omukaaga nekiroopebwa mu woofiisi etwala ebyabaana e Pallisa.
John Michael Okwalinga, akulira eby’abaana e Pallisa yagambye, emisango egisinga obungi gyava mu maggombolola y’e Gogonyo ne Oloki.
Ono agamba abaana abasinga obungi bagabibwa abazadde baabwe olw’obwavu obuyitiridde obwaleetebwa omuggalo.
Okwalinga yagasseeko nti n’okuba nga abaana tebasoma, abasinga bataayaaya butaayaayi, ekibaviirako okufuna embuto ze bateeyagalidde.
“Abazadde abasinga tebamanya wa abaana baabwe gyebalaga; obuvunaanyizibwa bwabwe obwokulaba nga abaana baba bulungi babwerabidde. Kyova olaba kati abaana batandise okufuna embuto, tugenda kulaba ng’emisango gy’okufuna embuto gyeyongera wamu n’akawuka ka mukenenya,” Okwalinga bweyagambye.
Dr. Godfrey Mulekwa, akulira eby’obulamu mu Pallisa yategeezezza nti abawala ebitundu 25 ku buli kikumi babadde bafuna embuto nga tebanneetuuka naye olw’omuggalo, asuubira omuwendo guno okweyongera.
Omubaka wa gavumenti e Pallisa Kyeyune Sseyonjo, yasabye abazadde batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe balekeraawo okwekwasa okuggalwa kwa’amasomero ng’ensonga y’abaana okufuna embuto.