Abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo okwetoloola Uganda bakungaanidde ku ssomero lya Gayaza High School okubangulwa wamu n’okubakubiriza okwenyigira mu by’obulimi kibasobozese okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Guno mulundi gwa mukaaga (6th)nga abayizi babangulwa nga ku luno batambulidde wansi w’omulamwa, “LEARNING TO DO AND DOING TO LEARN”.
Ng’omu ku kaweefube w’Obwakabaka okutumbula eby’obulimi ssaako n’okukubiriza abavubuka okwerwanako nga bayita mu nkola ya mmwanyi terimba, Katikkiro Charles Peter Mayiga, alambudde ennimiro ssaako n’eddundiro ly’ente n’ebisolo ebitali bimu, ebirundibwa mu kifo ekifunda naye nga ofuna ekiwera.
Katikkiro asimbye ekitooke ekiwooleddwa obulungi okusobola okukula n’ekiriisa, era alambudde ekyuuma ekiwoza amanda agafumbisibwa nekigakuuma nga akola bulungi.
Mu bubaka bwe, Katikkiro agambye nti Abavubuka beetaaga okumanya nti ekintu ekisinga obukulu mu bulamu ssi kyekyo oli kyakola oba kyeyegwanyiza, wabula kyekyo ekimuwa essanyu nga byokola bitambula era obulimi kyekimu kubintu omuntu byayinza okukola nagaggawala. Era abaana balina okukimanya nti obulimi ssi kibonerezo, wabula kukozesa bwongo n’ogaggawala.
Agasseeko nti okubeera mu bulamu obulungi tekitegeeza kuba lawyer, kitegeeza kukola Kintu ekikuwa ensimbi ggwe nab’omu makaago ne mubeera bulungi.
Farm Camp yeetabiddwamu amasomero 91 okwetoloola eggwanga.