Bya Paul Kato
Kalungu – Buddu
Abayizi abawerako mu disitulikiti y’e Kalungu bakonkomalidde ku nguudo oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Tibuhaburwa okuyisa ekiragiro, abayizi bonna badde ewaka okumala ennaku 42 ng’omu ku kaweefube w’okukendeeza ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Abamu ku bayizi bano basabye abakulembeze okubayambako kubanga ab’emmotoka z’olukale ze balina okukozesa okudda ewaka bongeza ebisale ekintu ekizibuwazza entambula yaabwe.
Mu kiseera kino okuva e Kalungu okugenda e Masaka awabadde watwalira 4000, kati wa 8,000/= okuva e Kalungu okutuuka e Lyatonde batambulira 15,000/= okuva ku 8,000/=.
Ate e Mbarara awabadde watwalirwa 15,000/= kati batambulira wakati w’emitwalo 3,0000/= ne 40,000/=. Okugenda e Mutukula ng’ova e Kalungu batambulira 15,000/= -20,000/= okuva ku 8,000/=.
“Nze nsangiddwa nga nnina ssente ntono tezisobola kuntuusa kyokka bwenkubidde bazadde bange nabo bang’ambye nnindeko bayiiye kuba tebalina ssente.” Bw’atyo omu ku bayizi abasangiddwa ku kkubo Ritah Namukwaya bw’agambye.
Abamu ku bayizi bano olugendo batandise okulutambuza ebigere n’entwala yaabwe nga balina essuubi nti mu maaso eyo basobole okusangayo entambula esobola okubatwalira ku bisale ebya wansi.
Abayizi abasomera mu kitundu ky’e Kalungu okusinga bava mu disitulikiti eziriraanyeewo omuli; Masaka, Lyantonde, Mbarara, Kyotera ku nsalo e Mutukula awamu n’endala.
Bo abatakisi mu kitundu kino bategeezezza nga nabo embeera bwe yabasobedde kuba abaapoliisi bakambwe ku biragiro bya Ssennyiga Corona ng’abantu babakkirizza batono nnyo mu mmotoka kyokka ate nga nabo amafuta bagabaseera.