• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abayeekera bongedde okuwamba mu Congo,  Eggye lya East Africa ligenze kutaasa mbeera

Gambuuze by Gambuuze
June 16, 2022
in Amawulire
0 0
0
Abayeekera bongedde okuwamba mu Congo,  Eggye lya East Africa ligenze kutaasa mbeera
0
SHARES
45
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ssentebe w’omukago gwa East Afirika era Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta alagidde eggye ly’omukago guno erya East African Standby Force okuyingira munda mu ggwanga lya Congo bayambeko ku ggye ly’eggwanga eryo okwetakkuluza ku bayeekera abongedde okuwamba ebitundu mu Congo.

Abajaasi b’ omukago guno amakanda bagenda kugasimba mu bitundu okuli North Kivu, South Kivu awamu ne Ituri ng’eno abayeekera ba M23 abaagala okumamulako obukulembeze bwa Felix Tishekedi gyebasinza amaanyi.

Uhuru Kenyatta mu kiwandiiko kyafulumizza, agambye nti obutali butebenkevu mu buvanjubwa bweggwanga lya DRC mu bitundu bye Ituri ne Kivu butadde ebyokwerinda by’amawanga gannamukago mu katyabaga nga weetaaga okubaawo ekikolebwa.

Okusinziira ku Kenyatta kyebagenda okukola ng’eggye ly’omukago kwekuggya eby’okulwanyisa n’emmundu ku bantu bonna ababirina awatali lukusa kuva mu gavumenti ya Congo kuba kino kyekisinze okuvaako obukubagano mu kitundu kino.

Guno gwemulundi ogugenda okuba ogusoose ng’amawanga gano gakolera wamu, okuva abakulembeze lwebaasalawo okutondawo eggye eryawamu.

Kinajjukirwa nti mu mwezi ogwokuna omwaka 2022, abakulembeze b’amawanga ga East Africa mu nsisinkano eyali e Kenya ,baalagira obubinja bwabayeekera okussa wansi ebyokulwanyisa babiweeyo eri gavumenti ya DR Congo wabula nebeerema.

Bino webijjidde nga omukago guno gwetemyemu oluvannyuma lwa gavumenti ya Congo okulumiriza Rwanda okuwagira abayeekera ba M23 ababadde bakamala okuwamba ekitundu kye Bunagana ku nsalo ya Congo ne DR Congo.

Rwanda nayo nnaku ntono eziyise yalumiriza amaggye ga DRC okuwamba abajaasi b’eggye lya Rwanda , nookusindiika ebikompola mu Rwanda.

Wetwogerera kizibu okumanya oba gavumenti ya Rwanda enaasindiika amaggye gaayo okwegatta ku maggye gannamukago, okwanganga abayeekera ba M23.

Share this:

Tags: DRC CongoEast African Standby ForceM23Rwanda
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist