Musasi waffe
Abantu abawerako balumiziddwa byansusso nebaddusibwa mumalwaliro ag’enjawulo oluvanyuma lw’akabenje akagudde mu masanganzira oluguudo oluva e Nalya werweggatira ku lwe Kiwatule mu gombolola ye Nakawa mu ddisitulikiti ye Kampala.
Emmotoka eziwera 10 ne ppikipiki bbiri ziyonooneddwa byansusso mu kabenje kano. Kino kireeseewo akalippagano k’ebidduka akamaanyi kuluggudo luno.
Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigire atageezazza nti poliisi eri mu kaweefube wakugyawo mmotoka zino.
Tekinategeereka bulungi kabenje kano kwekavudde, wamu n’amannya gaabo abalumiziddwa.