Bya URN
Mukono
Abasunsula abeesimbyewo mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) e Mukono, basabye bannabyabufuzi abawanguddwa mu bibiina ebirala obutasuubira kubawa Kkaadi ya NUP kuvuganya ku bifo bya bukulembeze mu Mukono.
“Twakizudde nti, waliwo abawanguddwa mu Kamyufu ka NRM naye nga oli wano, twagala mukituyambeko nga olina obujulizi nga ono bamubalira nti afunye bbiri nga kati azze wano acankalanye buleete,” Akulira okusunsula kwa NUP e Mukono bweyagambye.
Kino kiddiridde bannabyabufuzi abawanguddwa mu Kamyufu ka National Resistance Movement (NRM) n’abamu ku bavudde mu kibiina ki Democratic Party (DP) okuddukira mu NUP ekikulembera Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine bafune Kkaadi.
Abaddukidde mu NUP kuliko; Micdad Mulimira eyawanguddwa mu kamyufu ka NRM ku kifo kya Meeya, Davis Lukyamuzi eyaganguddwa Godfrey Mwebe ku bwa kkansala we Nagojje ku lukiiko lwa disitulikiti.
Lugoloobi yalabudde nga abawanguddwa mu bibiina ebirala baleme kumalira NUP budde kubanga omugaso gwayo bagulabye mu kaseera kazibu.
Munnakibiina ki NUP Allan Mawanda, yasanyukidde eky’okugaana abawanguddwa mu Kamyufu awalala nti, kijja kukendeeza ku bambega abava mu kibiina ki NRM nga baagala okukyankalanya NUP.
Mukusunsulamu kuno okutandise leero e Kavule Mukono kugenda kumala ennaku ssatu nga kw’ abakulembeze ku mutendera gw’ abakiise ku disitulikiti, ba ssentebe b’eggombolola ne bakkansala. Ababaka ne bassentebe ba Disitulikiti bo bakusunsulibwa ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya.
Lugoobi yanyonyodde nti, mukusunsulamu okusinga bagenda kutunuulira buwulize eri ekibiina wamu n’amaanyi eyeesimbyewo galina mu bantu.
Omubaka Betty Nambooze eyakava mu DP neyegatta ku NUP yategeezezza nti, olwokuba ekibiina tekinanywera wansi ku byalo okusunsulamu kwa kuyamba okufuna omuntu omutuufu alina okwesimbawo.