Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangalira mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka erya South West America-Texas baleese oluwalo lwa bukadde obusobye mu 15 okuyambako ku ntambuza y’emirimu gya Gavumenti ya Beene.
Ettu lino bano ababadde bakulembeddwamu Ssalongo Mikayiri Mukasa balikwasizza Minisita avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ebweru, Owek. Joseph Kawuki kulwa Katikkiro ng’era ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bw’awadde Owek. Kawuki abakubiriza okugoberera obubaka obukwata ku Bwakabaka obukakasiddwa okuva embuga kubanga abali kuno bebasinga okumanya ensonga ezibukwatako.
Owek. Mayiga era yeebazizza abakiise embuga olw’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka omuli ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka kyeyateegeka ebweru, okukwatirako ekitongole kya Kabaka Foundation mu kujjanjaba abantu n’ebirala bingi.
Ono abakowoodde okwenyigira mu bukulembeze mu nsi zebawangaliramu okusobola okubaako ebibatusiibwako n’okuwaayo ebirowoozo ebibaziimba nga bo.
Akulembeddemu bano era Omumyuka w’Omwami atwala essaza lino, Ssalongo Mikayiri Mukasa yeebazizza nnyo Katikkiro olw’omulanga ogw’okukubiriza abantu ba Buganda obutekubagiza nga kibakoozemu omulimu okukungaanya oluwalo okubezaawo Obwakabaka.
Amasaza amalala okubadde United Arab Emirates bawereza akakadde kamu, Mid Atlantic America- Merryland Washington DC 3,750,000, Southern California-Los Angeles 7,206,756=