Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti y’amagye etuula e Makindye eyimbudde abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) 13 ku abo 49 abaakwatibwa e Kalangala omwaka oguwedde nga Robert Kyagulanyi Ssentamu anoonya akalulu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/02/gSJD.png)
Bano 49 baakwatibwa mu Decemba w’omwaka oguwedde era ne basimbibwa mu kkooti y’amagye ku bigambibwa nti baasangibwa n’ebyokulwanyisa.
Leero ku Mmande, akulira oludda oluwaabi, Capt.Ambrose Guma, ategeezezza omulamuzi Gutti ne kkooti nti, alina ebiragiro obutawakanya kweyimirirwa kw’abantu 12 ku bakwate 49 omuli abawagazi wamu n’abakuumi ba Kyagulanyi.
Ku bano kuliko; Rachel Akiiki Tusiime, Saphinah Nansovo, Jamie’s Namwenje Kalyango, John Miiro, Bonny Obicho aka Makanika, Fatumah Namubiru, Joy Namuyimba aka Joy Strong, Monica Twashemerirwe alias Monic, Oliver Lutaaya, Benedict Musisi ne Nelson Ndyasiima.
Oluvannyuma bannamateeka balaze ebiwandiiko okuva mu ddwaliro lya St.Francis Hospital Nsambya nga biraga nti William Ntege aka Kyuma Kya Yesu nti alina okugenda mu ddwaliro okufuna obujjanjabi mu kaseera nga tannakwatibwa.
Mu nsala ye Lt. Gen Andrew Gutti akkiriza bano 13 okuyimbulwa naye n’abateekako obukwakkulizo obukakali okusobola okubeeyimirira.
Bano Gutti abataddeko ekkoligo obutafuluma Kampala ne Wakiso nga tebafunye lukkusa kuva mu kkooti era nga bateekeddwa okweyanjula emirundi ebiri buli mwezi.
“Buli omu ku mmwe alina okusasula akakalu ka kkooti ka bukadde 20 ezitali zabuliwo ate ababeeyimirira buli omu asasule obukadde 50 ezitali zabuliwo. Singa munaamenya akamu ku bukwakkulizo buno, okuyimbulwa kwammwe kujja kusazibwamu.
Wabula ate Nubian Li amatuufu Ali Bukeni awamu ne Eddy Mutwe amatuufu Eddy Ssebufu n’abalala 34, kkooti ebagaanye okweyimirirwa era balina okulindako kkooti okusalawo ku nsonga zaabwe ku Mmande ejja.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti abakwate bano 49 wamu n’abalala abakyanoonyezebwa, baasangibwa n’amasasi nga January 3, e Makerere Kavule mu zzooni ya Kiggundu, ekintu ekimenya amateeka.