![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/06/Takisi-t.png)
Omukago ogugatta abavuzi ba takisi mu Kampala gwagala ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya Kamapala Capital City Authority [KCCA] okuddiriza ku bukwakkulizo bw’okuwandiisa ba dereeva basobole okuwandiisa buli muntu.
Wiiki ewedde KCCA yatandika okuwandiisa takisi zonna ezikolera mu kibuga n’ekigendererwa kyokuziwa ennamba n’oluguudo kwezirina okukolera.
Buli takisi okuwandiikibwa erina okuba n’e logbook eraga obwannayini oba endagaano takisi eno kweyagulirwa, endagamuntu ya dereeva, driving permit, wamu ne layisinsi eraga nti takisi ekkirizibwa kusaabaza abantu.
Okusinziira ku nkola y’emirimu, KCCA ewandiisa dereeeva omu yekka ku takisi abavuzi kyebagamba nti sikituufu.
Khalid Tamusuza, omuvuzi wa takisi ku siteegi ya Mityana- Mubende mu paaka y’e Nateete, agamba nti takisi emu evugwa lwakiri abantu babiri abalina okuwandiisibwa.
John Sserwanga, omuvuzi wa takisi ku siteegi ye Mukono mu paaka empya agamba nti ba dereeva kati abatalina motoka balekeddwa ebbali mu nteekateeka eno.
Mustafa Mayambala, akulira ekibiina kya Uganda Transport Development Agency agamba nti aba KCCA balina okuwandiisa ba dereeva abalala amangu ddala nga bamaze okuwandiika abo abalina takisi zebavuga mu kaseera kano.
Ono agamba abo abatawaandiikiddwa kati bayinza okujjibwa mu mulimu gwa takisi ng’ate muno mwebajja ekigulira magala eddiba.
Okuwandiisa takisi kubadde kulina okukoma nga June 12 wabula minisita atwala kampala Betty Amongi, naalagira kugende mu maaso okutuusa ku nkomerero y’omwezi guno.
URN