
Bya
URN
Abavuzi ba takisi e Mukono bawakanyizza ekiragiro ky’abakulira ekibuga ky’e
Mukono okuwera okutikkira abantu ku nguudo.
Ku
Bbalaza abakulira ekibuga baagamba nti okutikkira ku nguudo kyekimu kubireeta akalippagano
k’ebidduka.
Ezimu ku nguudo abakulu ze baagala abantu baveeko kuliko amasanganzira ga Mukono-Jinja-Katosi n’aga Mukono-Bugerere.
Abakulu baagala takisi zonna zidde mu paaka wamu n’akabuga ke Seeta mu
ggombolola y’e Ggoma.
Akulira abakozi e Mukono, Richard Monday
yagambye nti bakooye akavuyo akaleetebwa aba takisi wamu n’okuvugisa ekimama.
Kyokka abavuzi ba takisi bagamba nti sibeetegefu kugondera kiragiro kino kubanga abasaabaze tebaagala kugenda mu paaka.
John Baptist Ndawula, akolera ku siteegi ya Katosi yagambye abakulembeze mu Mukono bebaviirako obuvuyo buno nga beeyingiza mu ntambuza y’emirimu.
“Sikituufu nti okubeera ku nguudo kuviirako obubenje, ate ne ppaaka ntono kale
bwetunaava wano abakungu mu kibuga bajja kukkiriza abantu abalala,” Ndawula
bweyagambye.
Elisa Ssewanyana akolera ku siteegi y’e Bugerere yagambye nti abasaabaza
babeera ku budde n’olwekyo tebasobola kugenda mu ppaaka kubanga kitwala obudde
bungi.
Kyokka akulira ekibuga yagambye beetegefu okussa ekiragiro kyabwe mu nkola era nga wiiki ejja, oyo yenna anaasangibwa nga akolera ku luguudo wakukwatibwa.