Bya Ssemakula John
Ssese
Minisita w’abavubuka, okwewummuza n’ebyemizannyo mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, asabye abavubuka ba Beene mu ssaza ly’e Ssese okujjumbira ebibiina ebisizi by’ensimbi basobole okwekulaakulanya.
“Ssentebe njagala munzibire ebibiina by’abavubuka ebisiga ensimbi ebigenda okusonda ssente ez’enjawulo ebitakka wansi wa 30 nga biteeseteese bulungi ssente zaabwe ne kye byagala okukola,” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Okwogera bino Ssekabembe abadde Ssese ku Dream Land Guest House, ng’akomekkereza ekitundu ekisooka eky’okutalaaga amasaza gonna aga Buganda ng’abasomesa ku nnambika yaabwe wamu n’okubalaga engeri gye basobola okulondamu abakulembeze abatuufu.
Owek. Ssekabembe abakubirizza okunywerera ku kiragiro kya Ssaabasajja eky’okukola, okufissa, okutereka wamu n’okusiga kibayambe okwekulaakulanya.
Ono yagambye nti enkola eno ey’okulambika abavubuka y’esobola okuteekawo olujegere lw’abakulembeze oluyunga ekyalo ku ssaza ate nalyo ne lyegatta ku Bwakabaka.
Abasabye okulonda abakulembeze abatuufu era bakimanye nti omulimu gw’okuzimba Buganda gwabwe ng’abavubuka era bakole ebibiina by’abavubuka bya bantu 10 ku buli kizinga kibayambe okutambulira awamu.
Wano Kweba atwala Ssese Augustino Kasirye alaze obwennyamivu olw’abantu abafudde abavubuka ku Nnyanja abapakasi baabwe nebalemwa okwekulaakulanya.
Kweba Kasirye asabye Obwakabaka okumuyambako babangule abavubuka mu mirimu emirala kubanga abasinga mu kitundu kino beesibye ku kimu kya buvubi ate ng’ennaku zino eby’ennyanja bitono.
Omulungamya w’ebibiina by’obukulembeze mu Buganda, Joseph Balikuddmbe wamu n’Omuk. Hassan Kiyemba, basabye abavubuka okukwatirako bannaabwe basobole okwezimba.
Ssentebe w’abavubuka mu Ssaza lye Ssese Mwanje Daniel, asabye Minisita Ssekabembe bayambibweko ku nsonga y’akawuka ka siriimu akasusse mu kitundu kino.
Abavubuka era basabye Minisita Ssekabembe okubayamba ku bantu abavaayo okubatiisatiisa buli lwebavaayo okubaako woofiisi gye baagala okwesimbako.
Kaweefube ono, Owek. Ssekabembe ne ttiimu ye baamutandikira mu Kyaggwe ne bamutwala e Buddu, wuuyo Kkooki, Kabula nga leero abadde Ssese .