Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abavubuka okukolera awamu kibayambe okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe wamu n’okukuza Buganda.
Kamalabyonna obubaka buno abuwadde atongozza olukiiko lw’abakulembeze b’abavubuka mu Bwakabaka olumanyiddwa nga Buganda Youth Council (BYC) nga bino byabaddewo ggulo mu bimuli bya Bulange.
“Nkubiriza obukulembeze bw’abavubuka bwe ng’enda okutongoza leero okusikiriza abavubuka okwemanyiiza okukolera awamu nga bettanira obweggasi. Awo nno Ssaabasajja bw’awa omulembeze gwe abavubuka, ffe abaddukanya gavumenti ye tulina okubangawo enteekateeka enaasobozesa omuvubuka okukyusa embeera z’omulamu bwe.” Mayiga bwe yagambye.
Katikkiro Mayiga yagambye nti eky’omulembe Omutebi okubeera ogw’abavubuka si ng’ombo naye waliwo enteekateeka entegeke Beene gye yawaayo okulaba ng’abavubuka basobola okwenyigira butereevu mu nkulaakulana y’ensi yaabwe.
Owek. Mayiga abavubuka yabasabye okwekuuma endwadde nga Siriimu babeere balamu kubanga ensi nga Buganda okukulaakulana yeetaaga abantu baayo okubeera abalamu obulungi.
Minisita ku bavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe, yalaze nti balina enteekateeka mu mwaka gumu obukulembeze buno bubeera n’abakulembeze ku mitendera ogutuuka wansi mu byalo n’amasaza era nga batunuulidde abakulembeze abawera abasoba 534,500 okwetooloola Buganda.
Abadde ssentebe wa BYC, Owek. Paddy Kiganda, yaggumizza obulungi bw’okuwaayo obukulembeze ng’abantu bakyakuyaayanira era n’asaba n’abakulembeze abalala okubalabirako.
Ssentebe omuggya Baker Ssejjengo ategeezezza nti, obuvunaanyizibwa obubaweereddwa bukulu kubanga ebitundu 70 ku buli 100 eby’abantu abali mu Uganda, bavubuka era nga bagenda kukola obutaweera okulaba nga bakyusa obulamu bwabwe.
Baker Ssejjengo yalondeddwa ku bwassentebe bw’olukiiko olufuzi olwa bassentebe ba Buganda Youth Council, amyukibwe Kavuma Derick, Kijjambu William Muwandiisi, Omuwanika Nambogga Evelyn, Zzimbe Zephania abeere omwogezi n’abalala abaalondeddwa ku lukiiko luno.