Bya Gerald Mulindwa
Makerere
Mukuumaddamula wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abavubuka bulijjo okubeera n’ebigendererwa ebinene.
“Abantu bangi naddala abavubuka ebintu bye baluubirira biba buntu katole, buntu butono. Bulijjo abavubuka mbagamba nti muluubirire binene, bwaguuga.” Owek. Mayiga bw’abakubirizza.
Entanda eno Katikkiro Mayiga agisibiridde muzzukulu we Frank Namugera, leero ku Lwomukaaga bw’abadde agattibwa ne Robinah Nabyonga ku kkanisa ya St. Augustine Chapel e Makerere mu Kyaddondo.
Mayiga annyonnyodde nti singa omuntu alemwa okutuukiriza ebinene by’abadde ayagala, alina omukisa okufuna ekiddirira mu bunene.
Kamalabyonna asabye abavubuka okwewaayo bafumbiriganwe nga bukyali kubanga obufumbo bunyuma mwembi mukyali bato.
Okusinziira ku Katikkiro, kino kibawa omukisa okukola ku nsonga endala ezizimba obulamu era nebasobola okukulaakulana ate era nebazaala.
Mayiga agambye nti kikyamu abantu abafumbiriganwa okweraliikirira abaana n’agamba nti ensonga yokka erina okubatiisa bwe bwavu.
Ono abuulidde abagole ng’abaana bwe bataleeta bwavu ng’abasinga bwe balowooza kuba n’abalina omu bayagga. Wabula n’abasaba okubeera abatetenkanya, basobole okugaziya ennyigiza yaabwe.
Katikkiro abasabye babeera bakozi kubanga Buganda okudda ku ntikko yeetaaga abantu abakozi era abalina ebiruubirirwa.
Abagole bano bagattiddwa Fr. Josephat Ddungu era n’abasibirira entanda y’okwagala wamu n’okukola ennyo basobole okwekulaakulanya.