
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek Robert Sserwanga asabye abavubuka okwenyigira mu nteekateeka ez’enjawulo ezireetebwa Obwakabaka basobole okwetaba mu lutalo lw’ okuzza Buganda ku ntikko.
Obubaka buno Owek. Sserwanga abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye abavubuka okuva mu Bika ebyenjawulo.
Owek. Sserwanga agamba nti Obwakabaka bulina enteekateeka okulondoola abavubuka okutuukira mu Bika byabwe okusobola okunyweza enkwatagana wakati w’abavubuka ng’obukulembeze mu Bika ebyenjawulo.
Minisita Sserwanga akuutidde abavubuka buli omu okufuna obuvunaanyizibwa abeeko kyakola mu lutalo lw’okuzza Buganda ku ntikko era kino bakukikola nga batandikira mu masomero nga beeyambisa ebibiina ebyenjawulo ebitaba abavubuka okuli Akaliba Akendo me Nkobazambogo.
Abavubuka minisita abasabye okubunyisa amawulire agava mu minisitule okutuuka ku mitendera gyonna egy’ Ebika okusobozesa Obuganda bwonna okutambulira awamu bukulaakulane.
Ono akuutidde abavubuka okulondoola nokuwagira emirimu gonna egy’Ebika, era naabasaba okukozesa obukugu bwabwe beegatte bakolere wamu okukyuusa embeera zabwe.

Minisita Sserwanga bano abakunze okujja mubungi era bakunge banaabwe mu Bika byabwe nga bayitira mu mirimu egy’enjawulo gyebakola nga 16, ogw’omusanvu okwongera okumanyagana.
Amyuka Ssentebe w’ Abavubuka mu Buganda, Derrick Kavuma ategeezezza nti abavubuka basaanye okulondoola ebikwata ku Bika byabwe basobole okuzuula nokutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu bwakabaka.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abakulembeze b’abavubuka ku mitendera egy’enjawulo n’abavubuka okuva mu Bika byonna ebikola Obwakabaka bwa Buganda.









