Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde abavubuka abaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo mu by’obufuzi okwewala ebibatwala ng’akazannyo n’okubaako bye bagezesa.
Okulabula kuno akukoze asisinkanye munnamateeka Simon Ssenyonga eyeegwanyiza okukiikirira abavubuka mu Buganda mu Palamenti leero ku Lwokutaano e Bulange Mmengo.
“Ebyobufuzi si kazannyo, ebyobufuzi bigendereddwamu okukyusa obulamu bw’abantu. Olina okubeera n’obuvunaanyizibwa n’osobola okulwanirira by’okkiririzaamu,” Mayiga bw’amusibiridde entanda.
Ono amusabye okuyamba abavubuka ng’abateesezza ebyo ebisobola okukyusa obulamu bwabwe.
Ye Simon Ssenyonga ategeezezza Katikkiro nti abadde mu bukulembeze era ng’asuubira nti asobola okukyusa obulamu bw’abavubuka mu Buganda.
Ssenyonga yeeyamye okuyamba abavubuka okuyiga enkozesa ya tekinologiya obulungi, kibayambe okumusikamu ensimbi era basobole okukulaakulana.
Ono annyonnyodde Kamalabyonna nti singa aweebwa omukisa waakuyamba okutumbula eby’obulimi kiyambe okutondawo emirimu.
Ssenyonga agamba nti n’ebyensoma bya Uganda birina okukyuka kubanga, abayizi basomesebwa kubeera baddu mu kifo ky’okubeera abayiiya abasobola okutondawo emirimu.
Asuubizza okukolaganira awamu ne gavumenti yaawakati, gavumenti ya Buganda wamu ne gavumenti ez’ebitundu okusitula embeera z’abavubuka mu ggwanga.