Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abavubuka bakubiriziddwa okwettanira eby’obulimi era bafube okubeera abayiiya kibayambe okwegobako obwavu.
Amagezi gano gabaweereddwa omukugu mu bya bizineensi Dr. Peter Kimbowa mu musomo ogwategekeddwa minisitule y’abavubuka mu Buganda nga eyita mu kitongole ky’abavubuka mu Bwakabaka ki Buganda youth Council .
“Kyetusookera ddala okusosowaza kwe kulima, Oba olina ettaka oba tolina. Tulina okubaawo n’ebibiina by’obweggasi nga biri ku magombolola. Emmere kye kintu ekigenda okubeera ekintu ekikulu ennyo mu nsi eno n’okusinga amafuta.” Bwatyo Dr. Kimbowa bw’ababangudde.
Dr. Kimbowa annyonnyodde nti akaseera katuuse abavubuka bakomye okunyooma eby’obulimi wabula bakozese amagezi gebafunye okulinnyisa omutindo gw’ebyobulimi olwo basobole okubyagazisa abalala era kikendeeze neku bbula ly’emirimu eriri mu ggwanga.
Minisita w’Abavubuka emizannyo nokwewumuza mu Bwakabaka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu afalaasidde abavubuka okweyambisa enteekateeka z’Obwakabaka nga eno eziteekawo okukyusa obulamu bwabwe naddala mukiseera kino nga eggwanga likyali mu kusoomozebwa kwa sennyiga corona agotannyiza kumpi buli kimu.
“Buganda egenda ku ntikko eteekeddwa okuba n’obusobozi obukola abalala byebatasobola kukola esobole okufuna abalala byebatalina esinziire okwo eyambe ebitundu bya Buganda ne Yuganda oba olyawo n’ensi yonna.” Minisita Ssekabembe bw’agambye
Ate ye Ssentebe w’Abavubuka ba Buganda Baker Ssejengo agamba nti okuyita mu misomo nga guno bayina essuubi nti ekiruubirirwa kyokusitula embeera y’ abavubuka kyakutuukirira ate nokulaba nga batuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe ku lugendo olkwokuzza Buganda ku ntikko.
Olukungaana luno lutambulidde kuy mulamwa oguvuga nti Omuvubuka n’Ebyenfuna wakati mu kusoomozebwa .
Obwakabaka bwakugenda mu maaso nenteekateeka nga eno okulaba nga abavubuka mu Buganda nr Uganda okutwaliza awamu bakuguka mu bintu ebyenjawulo okufuuka abomugasso eri egwanga