Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, asabye abavubuka okutegeera empagi Buganda kw’eyazimbirwa, kibayambe okwongera okugitwala mu maaso.
“Mulina okutegeera okunyweza n’okutaasa Nnamulondo, kibeere kikulu nnyo. Federo gye twetaaga mulina okugitegeera olwo musobole okugitegeeza n’abo be mutwala bw’atyo Owek. Kaawaase bwe yalung’amizza.
Entanda eno, Owek. Kaawaase yagiweeredde mu nsisinkano gye yabaddemu n’olukiiko olukulira abavubuka ba Buganda olulonde olwa Buganda Youth Council (BYC) abaamusanze mu woofiisi ye okubalung’amya olunaku lweggulo.
Ono yabayitidde mu nsonga Ssemasonga ettaano era n’abakuutira okumanya ebikwata ku ‘Ebyaffe’ era bakimanye nti bitambulira mu musaayi gwaffe ng’Abaganda era tekikoma ku bizimbe ng’abamu bwe balowooza.
Owek. Kaawaase abakulembeze bano abasabye okubuulirira bannaabwe abeefunyiridde okutunda ettaka ne beeyuna ebibuga n’okugula boodabooda nti bano basaanye okukimanya nti ettaka z’ente zaffe ng’Abaganda.
Abakuutidde okukola ennyo kuba okuva mu mwaka gwa 1966 eby’enfuna bya Buganda byadobonkana n’abasaba okukozesa obuyiiya okusobola okwebulula.
“Mumanye nti waliyo abavubuka abatali mu masomero nga bano bali mu byalo ewasembayo mubakolere enteekateeka ebaggya mu bwavu, mubafunire eky’okukola n’okubateekateeka obulungi.” Owek. Kaawaase bwe yagambye.
Ono abasabye okwewala okweyawulayawulamu naddala nga beesigama ku by’obufuzi oba eddiini kuba ekikulu mu Buganda kwe kusembeza abo abawa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa era beekwate ku bwerufu akaseera konna.
Owek. Kaawaase yakunze abakulembeze bano okulung’amya abavubuka ku ngeri entuufu gye basobola okweyambisa Omutimbagano okutumbula obuyiiya n’okweggya mu bwavu.
Abasabye okukimanya nti bo ng’abavubuka ly’eggye lya Kabaka eritaggwa mabega era batambule mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era bakimanye nti ensi yonna ebataddeko amaaso.
Minisita w’abavubuka, ebyemizannyo n’okwewumuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, yakakasizza nti alina essuubi ly’amaanyi mu bukulembeze buno kuba agirabamu obusobozi obusobola okukyusa Buganda ne Yuganda.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe abakulembeze bano baweereddwa ebbanga lya myezi mukaaga okunoonyezaamu abavubuka emitwalo 6 abanaasobola okutambuza emirimu ku byalo n’emiruka egy’enjawulo.
Ate ye Ssentebe wa Buganda Youth Council, Baker Ssejjengo, yategeezezza nti ekiruubirirwa kyabwe mu nsisinkano eno kwabadde kulung’amizibwa era bamanye ekyo ekibasuubirwamu mu lutalo lw’okukyusa embeera y’abavubuka ba Beene.
“Tugenda kutandika n’okukunga abavubuka mu miruka n’eggombolola n’ebyalo oluvannyuma tubawe emisomo egy’enjawulo okulaba nti tubawa abakugu ab’enjawulo tubafunemu ekyo ekibasuubirwamu.” Omuk. Ssejjengo bwe yannyonnyodde.