Bya Ssemakula John
Kampala
Abavubuka mu Buganda basabiddwa okukozesa obuyigirize bwabwe bwe balina mu bintu ebyenjawulo basobole okulwanirira ettaka lya mayiro, gavumenti ly’eyagala okuggyawo.
Okusaba kuno kwakoleddwa Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu ku Lwokuna mu Lubiri e Mmengo bwe yabadde atikkula Amakula okuva mu bantu ba Kabaka ab’e Kkooki mu Rakai.
“Mu kiseera kino emitima gy’Abaganda gyewanise olw’ensonga ezoogerwako ku ttaka lya mayiro naye njagala okubagumya era mbakubirize okubeera abakalabakalaba tuwangule ensonga eno.” Omuk. Luutu bwe yagambye.
Ono abavubuka abakubirizza okwenyigira mu mirimu egigenda okubakulaakulanya.
Eyakiikiridde ssaabaddu -Lwamaggwa, Owek. Abby Kasindwa yategeezezza nti abantu b’Omutanda bwe baagala okweyunga ku nteekateeka y’Emmwanyi Terimba, basobole okwekulaakulanya.
“Ffe ng’abantu b’e Kkooki tulina ennyonta y’Emmwanyi Terimba era twafuna amawulire nti mugenda kutuweereza ku mmwanyi ezo, abantu baffe ne tubakubiriza.” Owek. Kasindwa bwe yagambye.
Amakula agaaleeteddwa mwabaddemu amatooke, ebisolo, enku n’ebirala.