Bya Gladys Zawedde
Abavubuka bannamutimbagano (ba TikTokers), bakiise Embuga okulaba bwe basobola okukolagana n’Obwakabaka mu mirimu gye bakola.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo y’asisinkanye abavubuka bano baabuulidde ku nteekateeka y’Obwakabaka eya Situla Omutindo omuli ennyingo y’okutumbula ebitone naddala mu bavubuka wamu n’okutumbula obusuubuzi n’emirimu emirala abantu gye bakola.
Bannamutimbagano bano babuulidde Minisita nti baagala nnyo obuwangwa bwabwe era benyumiriza mu Bwakabaka bwa Buganda nga eno y’ensonga eyabasindiikirizza okukiika Embuga balabe bwe basobola okwenyigira obutereevu mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo nga bazitumbula nga bakozesa emitimbagano gyabwe ate nabo okuzeetabamu obutereevu.
Bano nti baatandikawo ttiimu y’omupiira gye baatuuma TikTok FC mwe basinziira okwongera okumanyagana n’okunyweza obumu, balina n’enteekateeka ze bakola okuyamba abali mu bwetaavu nga babadduukirira n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo wamu n’enteekateeka endala. Wano webasabidde okulaba bwe basobola okutambula n’Obwakabaka mu bino bye bakola.

Minisita Serwanga abavubuka bano abeebazizza olw’okwagala obuwangwa bwabwe era asanyukidde kye bakoze okukiika Embuga, abategezezza nti Minisitule gy’akulembera eyanirizza nnyo ebirowoozo byabwe era abawadde obweyamu nti Obwakabaka bujja kukolagana nabo mu nteekateeka ez’enjawulo naddala olw’ensonga nti omulembe omutebi Kabaka yaguwa bavubuka.









