• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abavubuka ba Buganda balabudde ku Kamuswaga, bagamba waliwo abamuli emabega okunafuya Buganda

Gambuuze by Gambuuze
October 13, 2022
in Amawulire
0 0
0
Abavubuka ba Buganda balabudde ku Kamuswaga, bagamba waliwo abamuli emabega okunafuya Buganda
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange –  Mmengo

Olukiiko olukulu olukulembera abavubuka mu Buganda olwa Buganda Youth Council – BYC lulabudde ku bikolwa bya Kamuswaga awamu naabo ababivujjirira okukomya okukyookooza Buganda.

Okulabula kuno bano bakukoledde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku Pope Paul mu Ndeeba mu Kampala  ku Lwokuna.

Bano nga bakuliddwamu Ssentebe wabwe, Omuk. Ssejjengo Baker bagamba nti waliwo bannabyabufuzi abali emabega w’ebikolwa bino naye babataddeko abiri kuba essaza kkooti kitundu ku Buganda.

“Tetumanyi byafaayo byonna ebiraga nti wali wabaddewo ekitundu ekimanyiddwa nga Obukama bwa Kkooki. Kino kyapangiddwa enseekeezi ezeesomye okutema ku lwazi. Kyewunyisa okulaba nti abantu ba bulijjo basobola okuggala oluguudo lu Mwasanjala nebasimba ebipande eby’ekimpatiira era ebyawulayawula mu bantu awatali wa buyinza yenna kubakuba ku mukono,” Ssentebe Ssejjengo bw’agambye.

Ono annyonnyodde nti ebikolwa nga bino bizze bikolebwa ku bantu ba Kabaka kyokka buli ab’ebyokwerinda lwebabadde bavaayo nga badda ku ludda lwabalumbaganyi nebakwata abalumbiddwa era emikolo egiwerako omuli n’ empiira gy’ Amasaza gigotaaganyiziddwa newatabaawo avunaanwa.

Abavubuka bano bawera nti wadde abalyolyomi bano baliko nab’ emmundu era nga obugumiikiriza bwa Buganda n’obukakkamu babilaba nga butiitiizi bakusigala nga beeyambisa amakubo agawa amateeka  ekitiibwa okumaliriza ensonga eno.

Bano balabudde abakulu okwewala okuzza Uganda mu byayita kuba ebikolwa by’okuvujjirira ebayaakanira ensalo n’okwawula mu bantu bye byavaako entalo n’okuyiwa omusaayi.

Abavubuka bano basabye abali emabega webikolwa bino baleme kukema bantu ba Kabaka kwevuma kwegatta ku Uganda eyawamu kuba ebbanga libadde ddene nga Buganda enyigirizibwa.

Bano bagamba nti nabo basobola bulungi okutandika okunyigiriza Kamuswaga nga bamuwaliriza okusooka okusaba olukusa okuyingira amasaza ga Buganda nga  Buddu, Mawota Kyaddondo n’amalala.

Abavubuka bawera okukola kyonna ekisoboka okulwanirira omugabo gwa Buganda mu Uganda eyawamu wabula tebagenda kutunula butunuzi nga bannakigwanyizi bawulayawula mu bantu ba Kabaka.

Kati bano ensonga bazitutte mu kabondo ka Buganda mu Palamenti, Palamenti y’ Omukago gwa East Africa, olukiiko olutaba enzikiriza awamu nabakwatibwako abalala okugonjoola ensonga eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist